TOP

Minisita asabye abasawo okusomesa abantu ku kugemesa abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

UGANDA eddiridde nnyo mu kugemesa abaana endwadde zinnamutta ezimanyiddwa omuli olukusense, poliyo, akafuba, diptheria, akalaakiiro, tetenansi, obulwadde bw’ekibumba, ssennyiga, kookolo wa nnabaana, lubyamira ne Rota Vayiraasi gye baakafunira eddagala erigigema.

Gera1 703x422

Dr. Bernard Toliva Opar owa UNEPI (ku kkono), omubaka Gaffa Mbwatekamwa, minisita Dr. Joyce Moriku Kaducu ne Dr. Ekwalu Obuku.

BYA SANDRA NAMIRIMU

Bino byayogeddwa minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako, Dr. Joyce Moriku Kaducu mu lukuhhaana lw’abasawo abeegattira mu kibiina ky’abasawo ekya Uganda Medical Association olwabadde ku wooteeri ya Fairway mu Kampala.

Yasabye abasawo okwongera okumanyisa abantu ebikwata ku kugema endwadde ez’enjawulo mu baana kuba nnyibangi bafa lw nga bandiwonyezeddwa.

Pulezidenti w’ekibiina kino, Dr. Ekwaru Obuku yagambye nti, Gavumenti yandibadde ebongera ebikozesebwa ne ssente okubayamba okutuusa empeereza ennungi eri Bannayuganda.

Dr. Benard Opar Toliva, ow’ekitongole kya Uganda National Expanded Programme on Immunisation (UNEPI) yagambye nti abaana bwe batagemebwa kivaako endwadde okubatta ekireetera amaka gye bava okubonaabona mu byenfuna, n’embeera.

N’asaba abasawo okwongera amaanyi mu kusomesa Bannayuganda.

Baabadde boogera mu kukuza wiiki y’okugema abaana mu Afrika olubeerawo mu mwezi gwa April.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfiira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...