Obulwadde bwa mulangira abamu bwe bayita olukusense butawaanyizza abantu mu bitundu ebitali bimu. Edda twali tubumanyidde mu baana bokka wabula ennaku zino n'abakulu bubakwata ate ne bayisibwa bubi nnyo.
Embeera eno yawalirizza Gavumenti okussaawo okugema okw'ekikungo okusobola okutangira abaana okulumbibwa obulwadde. Robinah Namabiro, omutuuze mu zooni y’e Buwenge Mpya mu kibuga ky’e Kamuli, mu disitulikiti y’e Kamuli yagambye nti ebikoola by'omwetango (mu busoga gwe bayita 'nnamuvu') ddagala ku bulwadde bw'olukusense. Gulina ekirungo ekiyamba okunyiga amabwa ne gakala mangu Omwetango guyamba okukkakkanya ebbugumu mu mubiri erireetebwa olukusense.
Obulwadde bwe buba bugaanidde munda eddagala lye limu liyamba okubufulumya Amabwa ag’omu kamwa ne mu ddookooli gaba ga bulabe kubanga gakkira ddala okutuuka mu lubuto. Mu mbeera eno omulwadde atandika okufulumya omukka oguwunya ekivundu olw'ebiwundu ebiri mu mubiri.
Namabiro yayongeddeko nti ate omwetango bw’ogugatta n'ebbombo eddagala likola mangu. Okwejjanjaba oyinza okufuna ebikoola by'omwetango n'eby'ebbombo obiyengere mu mazzi mu bbaafu n’anaaze omulwadde mu biseera ebigere.
Ebimu biyengere mu kikopo ng'okozesezza amazzi amayonjo ate engalo zo zirina okuba nga zitukula. Bwe bigonda obulungi ttululamu amazzi 0luvannyuma ssaamu omunnyo mutono omulwadde anywe emirundi esatu olunaku. Omwana, musiimuule mu kamwa okuggyamu ebicaafu.