TOP

Bannasaayansi balaze we batuuse ku ddagala lya siriimu

By Ruth Nazziwa

Added 12th June 2018

Mu kunoonyereza kuno, waliwo abaana abato babiri abagezesebwa ku ddagala eriwonya siriimu era omu bbo alondoddwa okumala emyaka mwenda ng’akawuka ka siriimu tekamulwaza ate nga tamira mpeke za ddagala.

Wakana 703x422

Bannasaayansi basisinkanye okukubaganya ebirowoozo ku ddagala eriwonya akawuka ka siriimu mu lukung'aana olw’ennaku esatu, nga lwetabyemu abakugu mu kunoonyereza ku ddagala eriwonya siriimu nabutya obulwadde buno gyebusobola okuwonyezebwa “HIV cure research”

Dr Paulo Munderi omukugu mu kulabirira n’okujjanjaba akawuka ka siriimu okuva mu International Aids Society agambye nti ennaku zino balina eddagala erijjanjaba obulungi siriimu naye ng'omuntu alikozesa alina okulimira buli lunaku ate obulamu bwe bonna .

" Tulina essuubi nti olunaku lumu tulifuna eddagala eriwonya siriimu ng’omuntu talina kumira ddagala lya mpeke," Munderi bwe yategeezezza.

Mu kunoonyereza kuno, waliwo abaana abato babiri abagezesebwa ku ddagala eriwonya siriimu era omu bbo alondoddwa okumala emyaka mwenda ng’akawuka ka siriimu tekamulwaza ate nga tamira mpeke za ddagala.

“ Olw’ebyokulabirako ng’ebyo n'okusinziira ku bituukibwako ennaku zino, abakugu mu kunoonyereza balina essuubi nti mu myaka egijja tujja kufuna engeri gye tujjanjaba akawuka ka siriimu ng’omuntu talina kumira ddagala ate nga n’akawuka tekamulwaza,”  Dr Paulo Munderi bw'atyo bw'agamba .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...