TOP

Aba kookolo bafunye ekisulo ku bwereere

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2018

Abalwadde ba kookolo abava mu bitundu by'ewala abalindirira okulaba abasawo e Mulago bafunye ekifo aw'okusula ku bwereere e Bukoto

Cancermachine1saveforweb 703x422

Ekyuma kya kookolo ekipya ekiri e Mulago

Bya Paul Kakande ne  Ibrahim Kiwanuka

Abalwadde ba kookolo abava mu bitundu by’eggwanga ebyesudde Kampala babazimbidde ekifo we bayinza okusula ku bwereere nga bwe bagenda mu ddwaaliro. Ekibiina ekigatta abantu b’omu Amerika abalumirirwa abalwadde ba kookolo be baawomye omutwe mu mulimu guno.

Albert Tusiime, akulira ekibiina kya ‘Cancer  Foundation’ yategeezezza nti okuva mu 2008 babadde mu kaweefube w’okuyambako mu kujjanjaba abalwadde ba kookolo .

“Tulina essanyu nti newankubadde tuyita mu kusoomoozebwa ng’obutaba na nsimbi zimala kukola mirimu nga bwe twagala naye  tusobodde okuzimbira abalwadde ba kookolo abatalina waakubeera amaka e Bukoto kuba bangi ku bo obujjanjabi babufuna Mulago gy’osanga abamu nga beebasse ku mbalaza ate era nga we basula nga wano we banaava okugenda okujjanjabwa mu Cancer Institute.

Albert yagambye nti, ekitongole kino kigenda mu maaso n’okukwasizaako gavumenti mu kulwanyisa obulwadde bwa kookolo mu ggwanga nga bayita mu kusomesa abantu ebibukwatako, okusaasaanya obutabo obusomesa ku kookolo n’engeri y’okumwewala ate n’okuteekawo ensiisira z’ebyobulamu mu bitundu eby’enjawulo naddala mu byalo awatatuuka bujjanjabi okulaba ng’abantu bayambibwa.

Yabadde mu lusiisira lwa kookolo mwe baakeberedde abantu abasoba mu 600 mu Kampala ku bwereere ng’amakanda baabadde bagasimbye ku wooteeri ya Africana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev2 220x290

Museveni asisinkanye Abasumba ba...

Museveni asisinkanye Abasumba ba Klezia okuva mu Afrika

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya