TOP

Ebbula ly’eddagala lya septrin kyadaaki liweddewo

By Ruth Nazziwa

Added 7th August 2018

Ebbula ly'eddagala lya septrin liweddewo oluvannyuma lwa Gavumenti okulangirira bwe lifuniddwa era abalyetaaga bagende mu malwaliro gaayo balifune.

Honsarahopendi1useforweb 703x422

Minisita Sarah Opendi ng'annyonnyola.

 

“Bannayuganda tebalina kweraliikirira kubanga ebbula ly’eddagala lya septrin eribaddewo tutandise okulimalawo era amalwaliro agatannalifuna, mulirinde ,” bwatyo  Dr. Sarah Opendi minisita omubeezi ow’ebyobulamu bwe yategeezezza bwe yabadde atangaaza ku mbeera y’ebbula lya septrine mu ggwanga.

 Dr. Opendi yagambye nti,  wakati w’omwezi gwa March ne April /2018, wabaddewo ebbula ly’eddagala lya septrin mu ggwanga ng’erimu ku ddagala erikozesebwa mu bujjanjabi bw’abalina akawuka ka siriimu mu malwaliro ga gavumenti okwetooloola eggwanga era ng’obuzibu buno bubadde buteeberezebwa okutuukira ddala mu August 2018.

 Olw’okuba ssente ezigula eddagala lino zaali ziwedewo, embeera eno yawaliriza abasawo okusindika abantu okulifuna mu malwaliro ag’obwannannyini gye balitunda kibasobozese okumira obulungi eddagala lyabwe.

Omukisa ogusooka gwateekebwa ku kugula ARV ng’eddagala ekkulu mu bujjanjabi bw’akawuka ka siriimu n’oluvannyuma septrine naye n’agulibwa era lyonna weeriri mu tterekero lya gavumenti ery’eddagala erya National Medical Stores (NMS) .

 Mu kiseera kino, ekitongole kya NMS kiri ku  mulimu gw’okulibunyisa mu malwaliro ga gavumenti ag’enjawulo era minisita yakubirizza abantu okumira obulungi eddagala lyabwe okubeera abalamu.

 Omugaso gwa Septrin mu bujjanjabi bw’akawuka ka siriimu

Dr. Kizza Lubega, omukugu mu by’eddagala okuva mu ddwaaliro erijjanjaba n’okunoonyereza ku kawuka ka siriimu erya Makerere University Joint Program on HIV/AIDS Programe (MJAP) e Mulago agamba nti, buli muntu ali ku ddagala lya ARV ateekwa okumira eddagala lya septrin kubanga amuyamba okugumya obwerinzi bw’omubiri n’okwongera okuziyiza endwadde eziyinza okumulumba.

 Era okuva lwe baatongoza enkola y’okwekebeza nga buli muntu azuulibwa n’akawuka ka siriimu alina okuteekebwa ku ddagala, tewakyali muntu amira septrine yekka. 

 Omira empeke emu, omulundi gumu buli lunaku era osobola okulimira mu budde bwe bumu bw’omirirako empeke zo eza ARV.

Naye bwe kiba ng’oyisibwa bubi buli lw’omira eddagala lino, bayinza okukukyusiza ekika ekirala n’omira ‘dapson’ kuba nalyo likola nga ‘septrin’ .

Eddagala erijjanjaba akawuka okubula kireka wa abalikozesa?

Dr. Kizza annyonnyola nti, kyabulabe eddagala eriweweeza akawuka ka siriimu okubula kubanga kino kiwa omwagaanya akawuka okwalula ne kakosa omubiri.

 Ekirala nga tulwanyisa akawuka ku mubala ogugamba nti, we tunaatuukira mu 2030, tujja kuba tetukyafuna muntu mupya afuna kawuka ate nga keebase ne mu bakalina, kiyinza okutubeerera ekizibu okutuukiriza bwe kiba nga tukyafuna embeera y’ebbula ly’eddagala erijjanjaba akawuka ka siriimu mu ggwanga.

 Erimu ku ddagala lino bwe liggwaawo, abantu baba tebakyasobola kumira bulungi ddagala lyabwe, ekyongera akawuka mu musaayi amaanyi n’okunafuya omubiri.

Embeera eno evaako okulumbibwa endwadde ez’enjawulo omuli; kisipi, akafuba, okuyiwa olususu, kookolo n’endala ekiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...