TOP

Okuyonsa gwe musingi gw'obulamu

By Ruth Nazziwa

Added 8th August 2018

Yonsa omwana mu ssaawa esooka ng'azaaliddwa omugeme endwadde ezandimulumbye.

1eriotkigongowebpic 703x422

Muky. Eriot Kigongo ow'e Namasuba - Kikajjo ng'ayonsa omwana we.

 

LEERO y’entikko ya kampeyini y’okuyonsa abaana omwaka guno era emikolo giri mu disitulikiti y'e Hoima kubanga y'emu ku disitulikiti ezitakoze bulungi mu nsonga y'okuyonsa abaana b’eggwanga.

Okuyonsa gwe musingi gw'obulamu era omwana ayonse akula bulungi, afuna mangu omubiri, talwalalwala ate abeera mugezi.

Loyce Kamusiime ku katale e Kibuli ayonsa era agamba nti, “Mpulira essanyu nga nnyonsa omwana wange kuba njagala akule bulungi era mmuwa obudde n’akkuta ate gye nkoma okuyonsa n’amabeere okujja era njagala nkozese okuyonsa obutamuzzaako mangu,” Kamusiime ku katale e Kibuli bwatyo bwagamba.

Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Vivian Nakaliika Sserwanja, agamba nti buli mwaka okuva nga July 1 okutuuka nga August 7, Uganda yeegatta ku nsi yonna okukuza wiiki y'okuyonsa era ng'omwaka guno, omubala gwe tutambuliddeko gugamba nti, "Okuyonsa gwe musingi gw'obulamu".

Ekitongole ky'ebyobulamu eky'ensi yonna ekya World Health Organisation (WHO) kiragira okuyonsa abaana mu mitendera esatu:

1. Mu ssaawa esooka ng’omwana yaakazaalibwa.

2. Okugenda mu maaso ng'oyonsa nga totabiikiriza na byakulya okutuuka lw’aweza emyezi mukaaga.

3. Omwana alina okuyonka wonna w’ayagalira asobole okukula obulungi.

 oyce amusiime ngayonsa Loyce Kamusiime ng'ayonsa.

 

Mu Uganda, buli mwaka abaana 66 ku 100 be bayonsebwa awatali kutabiikiriza na byakulya birala era nga mu nsi yonna, Uganda ekwata ekifo kya 23 mu kuyonsa abaana awatali kutabiikiriza na kyakulya kyonna.

Wadde nga tukyalina okusoomozebwa okulaba ng'abaana bayonsebwa kuba kitaasa omwana n’atafuna lubyamira n'okuddukana ate nga z'endwadde ezisinga okutta abaana abali wansi w'emyaka etaano mu Uganda.

Okunoonyereza kulaga nti buli mwaka, abaana 52 ku 100  abali wansi w'emyaka etaano be bafa lubyamira ate nga 33 ku 100 be bafa obulwadde bw'ekiddukano.

Naye ssinga bamaama basomesebwa ebirungi ebiri mu kuyonsa ne babimanya, basobola okuziyiza endwadde zino n'endala nnyingi ekitusobozesa okutumbula ebyobulamu mu baana abali wansi w’emyaka etaano ne bakula nga beeyagaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu