TOP

Ensala y’ebibala ekwagazisa okulya

By Olive Lwanga

Added 9th August 2018

Engeri gy’oteekateeka ebibala ekwagazisa n'abantu abalala okubirya ate nga tosaasaanyizza ndwadde.

Bibala4useweb1 703x422

Shirah ng'ateekateeka ebibala mungeri eyagazisa omuntu okubirya.

 

BULI muntu ayagala okulya ekintu nga kirungi ate nga kiyonjo okusobola okufunamu emiganyulwo emirungi wabula nga n’okusanyusa ku maaso mu ndabika yaakyo kikulu.

Shirah omukugu mu kusalaasala ebibala annyonnyola engeri gy’osobola okusalamu ebibala esikiriza okulya ate nga biyonjo.

Bw’oba onoosala ekibala, sooka okirongoose bulungi okyoze mu mazzi amayonjo kitukule okiwummuze wabbali kitonnyolokoke amazzi.

Kakasa nti kyakula bulungi okusobola okukisala n’ofunamu ekintu ekirala okugeza osobola okufuna wootameroni nga nneetooloovu bulungi n’ogisalamu ekifaananyi ky’ekinyonyi kyonna okugeza embaata.

Osobola okukwata ennaanansi n’ogisalako ekya waggulu n’okugisusaako ebikuta n’okolamu ekimuli.

Osobola okusala wootameroni n’oggyamu ekinyama eky’omu nda olwo w’okisokodde n’ojjuzaawo ennaanansi gy’osazeesaze obutundutundu oba ekibala ekirala kyonna nga grapes oba enkenene. Ne ku nnaanansi osobola okukola ekintu kye kimu.

 bibala ebiwedde okuteekateeka obulungi Ebibala ebiwedde okuteekateeka obulungi.

 

Ebirala nga kaloti osobola okuzisala nga nneekulungirivu oba mu butundutundu obutono bw’osobola okugaaya.

Oyinza n’okusala ennyaanya mu ngeri y’ekimuli n’ogenda ng’ogatta mu bibala oba mu saladi z’oba osazeesaze, nabyo birabika bulungi era bisikiriza okulya.

Oyinza okusalaasala ebibala eby’enjawulo n’obiteeka ku kati ne bibeera nga ku musito gw’ennyama, bino biba birabika bulungi nga bisikiriza okulya.

Oyinza okufuna cukamba naye n’omuyonja bulungi n’omuyisaako wuuma kungulu n’abeera nga eyesusaamu obukuta mu bitundu ebimu olwo n’omusalasala mu ngeri enneetooloovu olwo n’omugatta mu bibala ebirala naye aba alabika bulungi.

Bino byonna bikole ng’oli muyonjo, osobola okwambala enkampa ng’obadde obisala obutabijamawaza. Weebikkeko akagoye ka ‘apron’, by’okozesa birina kubeera biyonjo ne w’okolera nga watukula bulungi okuziyiza obuwuka okugwa ku by’oteekateeka.

Bw’omaliriza biteeke ku ssowaani ennyonjo nga nazo zirabika bulungi obikkeko n’akaveera akakolebwa okukola omulimu ogwo oba ekintu ekirala ekizirabisa obulungi n’okuziyiza obuwuka okugwako.

Bino byonna osobola okubikozesa akambe k’owaasa emmere awaka nga tolina kuuma konna keetaaga kugula na ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.