TOP

Abasawo kati ebibuuzo ebisaba emirimu babituulira ku kompyuta

By Ruth Nazziwa

Added 14th August 2018

Abasawo abasaba emirimu mu Gavumenti kati bagisabira ku kompyuta okwewala okubba ebibuuzon'okuwonya abava ewala ssente z'entambula.

Usc5web333yes 703x422

Abamu ku basawo abaabadde bakola ebibuuzo ku yunivasite e Makerere gye baabikoledde wiiki ewedde.

Minisitule y’ebyobulamu wamu n’ekitongole ekikwataganya eby’emirimu mu minisitule y’ebyobulamu ekya Health Service Commission (HSC) batandiseewo enkola y’okubuuza abasawo abasaba emirimu nga bakozesa kompyuta nga bagenda okuweebwa emirimu.

Dr. Pius Okong, ssentebe wa Health Service Commission agambye nti, “Twasazeewo okukozesa enkola eno kubanga kizibu okubbirako ebibuuzo ate ng’ofunirawo ebiba bivudde mu kibuuzo kino amangu ddala ng’omaze okukituula n’omanya oba obiyise.

Mu ngeri y’emu tetukyayagala kukozesa mpapula, omuntu ayagala omulimu alina kugenda ku kompyuta n’asaba omulimu gw’ayagala ng’asinziira gy’ali.

Enkola eno ekekkereza obudde ne ssente ezisaasaanyizibwa mu ntambula eri abasawo abava ewala n’ebibuuzo tebibbibwa nga bwe gubeera ku nkola y’ebibuuzo by’okukozesa empapula.

 r kongo yayogera eri annamawulire ku nsonga yabasawo okusabira emirimu ku kompyuta Dr. Okongo ng'ayogera eri Bannamawulire ku nsonga y'abasawo okusabira emirimu ku kompyuta.

 

Dr. Okongo ayongeddeko nti, ku mulundi guno, abasawo abatudde ebibuuzo bino mulimu abasawo abazaalisa 720, bannaasi 1300, abasawo abayambako mu kwekenneenya obuwuka mu laabu 120, abakola mu laabu 91, abateekateeka ebitabo mu malwaliro 90 n’abakola ku biwandiiko by’eddwaaliro 115, abakola ku mbeera z’abantu 70, abasawo b’endiisa 60 n’abalala.

Era abasawo bano bagenda kukola mu malwaliro ga Gavumenti agali mu bitundu eby’enjawulo omuli; Moroto, Arua, Fort Potal, amalwaliro ga KCCA n’amalala.

Abasawo abaasabira emirimu ku kompyuta baali 16,000 nga ku bano 2,500 be balina ebisaanyizo okutuula ebibuuzo bino era nga mwe munaava abanaaba basukkulumye ku bannaabwe okuweebwa emirimu gino.

Wabula Dr. Okongo mwennyamivu olw’ebbula ly’abasawo abakugu mu bujjanjabi obw’endwadde ez’enjawulo kubanga si bangu kufuna. Mu bano mulimu: Abajjanjaba emitwe, abasawo b’abakyala, ab’emitima, abasawo b’amagumba, ab’amaaso n’abalala.

Wadde ng’ebifo bino byalangibwa, tetwafuna basawo babisaba kuba tewali basawo baatendekebwa bamala okubijjuza.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 220x290

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala...

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi...

Kccawinssupercup 220x290

KCCA emezza Vipers n'esitukira...

Mike Mutebi yagambye nti sizoni eno alina essuubi ly'okukumba ebikopo byonna.

Seminti5 220x290

Mmotoka ya seminti endala etomedde...

LOOLE ya seminti endala eyingiridde ey'omusenyu ku luguudo lw'e Masaka ddereeva waayo n'afiiriwo ate abalala 5...