TOP

Eddwaaliro ly’abakazi n’abaana bokka ligguddwaawo mu butongole

By Herbert Musoke

Added 16th August 2018

EDDWAALIRO ly’abakyala n’abaana eriri ku mutindo gw’Ensi Yonna era nga lisuubirwa okukendeeza ku bizibu ebivaako abakyala okufiira mu ssanya lizimbiddwa e Mulago.

Mulago 703x422

Eddwaaliro ly’abakyala n’abaana nga bwe lifaanana.

Enock Kusasira, omwogezi w’eddwaaliro ly’e Mulago yagambye nti eddwaaliro lino lituumiddwa Mulago Specialised Hospital Maternal & Neonatal Centre nga liggulibwawo leero ( ku Lwokusatu) mu butongole.

Eddwaaliro lirina ebitanda 450 nga kkampuni ya The Arab Contractors Uganda Ltd ye yalizimbye era ligenda kukola ku nsonga z’abakyala n’abaana omuli n’ezeetaagisa obukugu wamu ne tekkinologiya ow’omulembe.

“Mu ddwaaliro lino, tugenda kukola ku nsonga ezikwata ku kuzaala omuli okulongoosa abakyala, ababuliddwa ezzadde, abalina obuzibu bw’okutonnya, ebizimba mu lubuto ne kookolo wa nnabaana.

Abaana abazaaliddwa nga tebannatuuka n’abazaaliddwa nga balina obuzibu ku bulamu bwabwe omuli abalina ebituli ku mutima n’ebirala byonna ebikwata ku baana omuli okulongoosebwa, okukuba ebifaananyi n’okubeekebejja byonna byakukolebwako”, Kusasira bwe yategeezezza.

Eddwaaliro lino ery’emyaliiro omusanvu, liriko lifuti ezitambuza abalwadde nga zisobola okutwala abantu 26 omulundi gumu era nga kwassiddwaako n’awasobola okuyita abaliko obulemu.

“ Twagala okutuusa obuweereza bw’obujjanjabi obusinga okubeera obw’omulembe Bannayuganda bwe babadde banoonya obweru nga mu Buyindi era eddwaaliro kuliko awasobola okugwa ennyonyi ya Nnamunkanga ng’ereese omulwadde”, bwe yategeezezza.

Ani anaafuna obujjanjabi mu ddwaaliro lino? Kusasira yannyonnyodde nti eddwaaliro lino lya kukola ku bantu bokka abanaabanga basoose okukeberebwe mu malwaliro g’ebitundu byaabwe ne baweebwa amabaluwa nga gabasindika mu ddwaaliro lino oba abalina ssente nga basobola okwesasulira.

“Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebyobulamu yatandikawo enteekateeka y’okuzimba amalwaliro mu buli ggombolola okusembeza obuweereza mu bantu.

Twagala abalwadde basookere mu malwaliro gano nga tebannaba kujja Mulago.

Mu ddwaaliro lino twagalamu abanyu bokka abeetaaga obujjanjabi obw’ekikugu ng’amalwaliro amalala gabalemeddwa oba ng’abasawo balabye nti beetaaga abalina obukugu obusinga ku bwabwe.

Kino kikoleddwa okwewala omujjuzo oguyinza okulemesa abeetaaga obujjanjabi bw’ekikugu okubufuna,” Kusasira bw’agamba.

Kusasira yagambye nti mu kiseera kino abasawo abagenda okukola mu ddwaaliro lino babadde mu kutendekebwa okw’enjawulo okulaba nga bafuna obukugu bw’okukozesa ebyuma ebyassiddwaamu Ebisenge eby’enjawulo Baataddemu ebisenge ebyenjawulo omuli, Presidential Suit ne V.I.P Suit.

Bino bisenge bya kikungu nga byefaanaanyiriza ennyumba entono ezimbiddwa nga ya mulembe.

Mulimu ekisenge ky’omulwadde omuli entebe (sofa) abagenyi be mwe batuukira okumulabako, eddiiro mwe basobola okumulindira singa abeera akyasumulukuka nga namwo mussiddwaamu entebe ez’omulembe, ekisenge ky’omujjanjabi, effumbiro, ekinaabiro ne ttivvi.

Bw’otuuka mu bisenge bino omanyirawo nti oli mu kifo kya njawulo olw’akawewo ak’enjawulo k’owulira.

Waliwo ebisenge ebituumiddwa Golden suites nga bino mussibwamu ekitanda kimu ng’omulwadde abeera n’entebe y’omujjanjabi, kabada mw’assa ebintu bye n’ekinaabiro.

Waliwo ebigendamu abakyala babiri nga baabawula n’entimbe ezitasobozesa omu okumanya omulala ky’akola.

Waadi z’olukale zigenda kubeeramu ebitanda mukaaga nga byawulwa n’entimbe.

Buli kitanda kijja kubeera n’ekifo we bassa omukka oguyamba omulwadde okussa (oxygen),waya ya yintaneeti okumanya ebikwata ku mulwadde, ettaala singa omulwadde abaako by’ayagala okukola nga yeetaaga ekitangaala n’ebirala.

Awakolerwa omukka Waliwo ekisenge eky’enjawulo ekizimbiddwa awagenda okukolerwa omukka oguyamba abalwadde okussa.

Omukka guno gugenda kuyisibwa mu mpiira ezaatambuziddwa mu ngeri ey’enjawulo okutuuka ku buli kitanda kya mulwadde nga tekyetaagisa kugunona nga bwe kiri mu bifo ebirala.

Ekifo kya bbanka Wateereddwaawo ekifo omugenda okukolera bbanka ez’enjawulo n’okussaamu ebyuma ebigaba ssente (ATM) ku myaliiro egyenjawulo okwanguyiza abalwadde,abeera baagala okufuna ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu