TOP

Mwekebeze mu budde muleme okusaasaanya siriimu

By Ruth Nazziwa

Added 21st August 2018

Abantu bangi batya okwekebeza akawuka ka siriimu ekitali kirungi kuba bw’otamanya bulamu bwo bwe buyimiridde, tofuna buvunaanyizibwa bwa kwekuuma, tewejjanjabisa ate era tofuna bujjanjabi butuufu ekikonya endwadde.

Hivtesting1webusenew 703x422

Musawo Emma Amalai, ng'aggyako omukyala omusaayi okugukebera

 

“Abantu bangi batya okwekebeza akawuka ka siriimu ekitali kirungi kuba bw’otamanya bulamu bwo bwe buyimiridde, tofuna buvunaanyizibwa bwa kwekuuma, tewejjanjabisa ate era tofuna bujjanjabi butuufu ekikonya endwadde.”

Bino musawo Emma Amalai omukugu mu kwekenneenya endwadde mu Kisugu Health Centre III, KCCA yabyogerede mu lusiisira lw’ebyobulamu olwabadde ku ddwaaliro lya Diana Medical Centre e Nsambya Keviina bwe yabadde asomesa abatuuze ku bulungi obuli mu kwekebeza endwadde naddala akawuka ka siriimu.

Akubiriza buli muntu okwekebeza akawuka ka siriimu ne bw’otoba mulwadde kuba kikendeeza ku mikisa gy’okukafuna ate n’abantu b’obeera nabo tobasiiga ssinga obeera nako, kubanga bw’obeera ku ddagala era ng’olimira bulungi, akawuka keebaka n’emikisa gy’okusiiga abalala gikendeera.  

bamu ku bantu abaagenze mu lusiisira okwekebeza endwadde ezenjawuloAbamu ku bantu abaagenze mu lusiisira okwekebeza endwadde ez'enjawulo.

 Ekyennyamiza, abantu abasinga batuuka okwekebeza ng’akawuka kaluddemu nnyo mu musaayi ng’atandise okulwala ekimuleetera okufuna obujjanjabi ekikeerezi  era akubiriza abantu okunyiikira okwekebeza bajjanjabwe ng’obulwadde tebunnabagonza.

Mu kaweefube w’okulwanyisa akawuka ka siriimu mu ggwanga, Minisitule y’ebyobulamu  ng’eri n’ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ekya World Health Organisation (WHO) baateekawo ebiruubirirwa ebigobererwa mu bujjanjabi bwa siriimu ebigamba nti nga tetunnatuuka mu 2020/2040, abantu 90 ku 100 balina okuba nga bakeberebwa akawuka ka siriimu ne bamanya bwe bayimiride; 90 ku 100 ku bakeberebwa ne bazuulibwa nga balina akawuka balina okutandika eddagala sso ng’abantu abalala 90 ku buli 100 abali ku ddagala akawuka kaabwe kalina okuba nga kakendeerede ddala mu musaayi nga tekalabika.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...