TOP

Akawompo k’omwana kalanga obulwadde obumulumbye

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2018

Engeri ennyangu maama gy'asobola okumanya omwana we afunye obuzibu ng'alabira ku kawompo.

Fontanel1web 703x422

Omwana omuto ng'ono bw'alwala osobola okulabira ku kawompo ke

Bya Stella Naigino

Omwana bw'alwala abazadde abamu balwawo okukimanya ekivaako oluusi n'okwesika nga tebategedde, kyokka ng'akawompo ke kabonero k'osooka okulabirako n'omuddusa ew'omusawo nga bukyali.

Omukyala buli lw’azaala omwana essanyu liba lingi nga bwe kyali ku Stella Namusobya bwe yazaala omwana we asooka wabula nga tamanyi nti okuzaala kitegeeza buvunaanyizibwa.

Nga wayise ebbanga, omwana we yatandika okulwala era bwe yatuuka mu ddwaaliro, abasawo baasooka kutunuulira kawompo ka mwana nga kazimbye ne bategeererawo nti omwana yali mulwadde ddala nga yeetaaga okwekebejjebwa.

Ebimu ku byazuulibwa byali nti, puleesa y’omwana yali erinnya ku sipiidi era abasawo baatandikirawo okumujjanjaba.

Namusobya baamubuuza lwaki yalwawo okuleeta omwana mu ddwaaliro ate nga yali alaba akawompo kazimbye, wabula ye yali tamanyi nti akawompo k’omwana omuto koogera bingi ku mbeera y’omwana.

Dr. Sabrina Kitaka, omusawo w’abaana agamba nti akawompo kabeera mu mutwe gw’omwana era bwe weetegereza, ekifo mwe kabeera, wabeera wakuba buli kiseera.

Ekifo ekyo kiba kigonda nyo era omwana bw’agenda akula, nako nga kaziba mpola mpola.

Dr. Kitaka agamba nti, omuzadde yenna alina okubeera nga yeekaliriza akawompo k’omwana we era nga bw’alaba kazimbye oba nga kaguddemu ng’amanya nti waliwo obuzibu.

Akawompo bwe kagwa munda kitegeeza nti, omwana wo talina mazzi mu mubiri era kibeera kikwetaagisa okumuwa ennyo amazzi n’okulaba omusawo akubuulire eky’okukola.

Ate akawompo bwe kazimba nakyo kitegeeza nti, omwana mulwadde ddala era ng’obeera olina okulaba omusawo omwanawo basobole okumwekebejja era ajjanjabibwe.

Ayongerako nti abaana abasinga bwe baweza omwaka gumu, obuwompo bwabwe buba buzibye wadde ng’abamu balwawo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda