TOP

Mukomye okusosola abalina obulwadde bw’ensimbu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

Abantu abalina abaana abalwadde b'ensimbu basabiddwa okukomya okubasosola n'okubatwala mu ddwaaliro bafune eddagala eribawonya obulwadde buno.

Ssekasambangasalakkeekikukkonoyedrkatongoleneanitamagoakulemberaekitongolekyaridoweb 703x422

Ssekasamba ng'asala kkeeki, (ku kkono ye) Dr. Kateregga ne Anita Mago akulembera ekitongole kya RIDO ku mukolo

Bya Tonny Kalyango

Abantu abawangaala n’abaana abalina obulwadde bw’ensimbu basabiddwa okukomya okubasosola. Kisaanye babayambeko okumanya engeri gye basobola okufunamu obujjanjabi okuva mu malwaliro kubanga obulwadde buno busobola okuwona.

Ekirala babaggyemu n’endowooza nti obulwadde buno buva ku ddogo ekiremesa abantu okugenda mu malwaliro.

Dr. Canaan Kateregga, omukugu mu ndwadde z’obwongo mu ddwaaliro ekkulu e Masaka yategeezezza nti ekizibu kino kyeyongera olw’abantu abasinga okulowooza nti obulwadde buno libeera ddogo ne balemererwa okutwala ababulina mu ddwaaliro newankubadde ng’eddagala erisobola okujjanjaba obulwadde buno gyeriri mu malwaliro.

Bwe yabadde mu kibuga Masaka ku mukolo ekibiina kya Rural Intergrated Development Organization kwe kyatongolezza kaweefube w’okulwanyisa obulwadde buno mu Greater Masaka, Dr. Kateregga yagambye nti okumalawo obulwadde buno essira lisaana kuteekebwa ku kusomesa bantu ku bye balina okukola okuyamba abalina obulwadde buno naddala gye bayinza okufuna eddagala.

Ssinga omulwadde ateekebwa ku bujjanjabi okumala emyaka 5 n’aliggyibwako n’ataddamu kugwa bamutwala nti awonye.

 r ateregga ngayogera ku mukolo Dr. Kateregga ng'ayogera ku mukolo

 

Ebivaako okugwa ensimbu

“Mu kiseera kino eddwaaliro lifuna abalwadde b’ensimbu abali wakati wa 30 ne 40 ku 100, ng’ekizibu kino kivudde ku:

1. Bantu naddala abavubuka abatandika okuzaala nga tebeekebezza okuzuula oba mu musaayi gwabwe mulimu obutoffaali bw’obulwadde buno.

2. Abazadde abalagajjala okujjanjaba omusujja gw’ensiri mu baana ekivaako omusujja okubalinnya ku bwongo ne buvaamu ensimbu.

3. Abakyala abazaalira mu bamulerwa abatalina bukugu kwewala mbeera eziyinza okuleetera omwana obulwadde omuli n’okukosa obwongo.

Dr. Kateregga yasabye gavumenti okwongera ku bungi bw’eddagala ly’ensimbu lye baweereza kuba lya bbeeyi ng’empeke emu egula wakati wa 1,200/- ne 1,500/- ekizibuwalira abalwadde okuligula.

Nina Nankya, eyakulembedde omutwe mu nteekateeka eno eyatuumiddwa ‘Purple Bench’ yagambye nti abaana abalina obulwadde buno basosolwa naddala mu masomero olw’endowooza enkyamu abantu ze babulinako. Yagambye nti, essira bagenda kuliteeka ku kusomesa bantu ku nkwata y’abalwadde n’obutabasosola.

Omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Masaka, Joseph Ssekasamba  yeeyamye okukolagana n’ekibiina kino mu kaweefube gwe balimu ng’abafunira obudde mu mikutu gy’empuliziganya n’enkiiko z’akuba okusobola okutuusa obubaka bwabwe eri abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...