TOP

Mugemese abaana kookolo w'omumwa gwa nnabaana

By Ruth Nazziwa

Added 7th September 2018

Eddagala erigema kookolo w'omumwa gwa nnabaana litaasizza abawala mu nsi yonna

Hondrjaneruthaceng2webuse 703x422

Dr. Jane Ruth Aceng

Minisitule y’ebyobulamu ewakanyizza eng’ambo eziyiting’ana ku yintaneeti ng’abantu bagamba nti eddagala erigema kookolo w'omumwa gwa nnabaana erya ‘Human Papillomavirus (HPV) vaccine’ lya bulabe eri abantu naddala ku bawala abato n’abaana ekitali kituufu.

Kuba basooka kulyekenneenya era ne liweebwa layisinsi okukozesebwa mu 2006 mu nsi yonna.

Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng agamba nti okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ekya  World Health Organization (WHO) kulaga nti, eddagala lino lisobodde okutangira abantu okufuna kookolo w’omumwa gwa nnabaana n’ebitundu 90 ku buli 100.

Zitangidde ensundo z’omu bitundu byekyama mu baana abawala abavubuka ne mu bakyala okuva mu mawanga ag’enjawulo nga mu  Australia, New Zealand, Belgium, Germany, Sweden, the United Kingdom, mu Europe, mu United States, Rwanda n’okwetooloola ensi.

Kookolo w’omumwa gwa nnabaana wa bulabe eri abakyala era mu nsi yonna, abakyala 466,000 be bateeberezebwa okukwatibwa obulwadde buno ate ng’abakyala 1,400,000 be bamulina.

Kookolo ono akwata ekifo kyakubiri kw’ebyo ebikyasinze okutigomya abakyala ate y’asinga okutta naddala mu nsi ezikyakula.

 eddagala erikozesebwa kugema kookolo womumwa gwa nnabaana Eddagala erikozesebwa okugema kookolo w'omumwa gwa nnabaana nga bwe lifaanana

 

Mu Uganda, abakyala 40 ku buli 100 balina kookolo era nga buli mwaka abakyala 1,800 be bazuulibwa okuba nabwo.

Mu mbeera eno, gavumenti yatongoza eddagala erimugema erya ‘HPV Vaccine’ mu 2015 eri abawala abali wakati w’emyaka 9 ne 14 mu doozi bbiri nga tebannafuna kawuka kano kuba tebannatandika kwegatta na basajja kibasobozese obutamufuna.

Wadde ng’ebireeta kookolo tebimanyibwa naye ebimu ku biyinza okukuteeka mu bulabe bw’okufuna kookolo w’omumwa gwa nnabaana mulimu:

  1. Yinfekisoni eziyitira mu kwegatta.
  2. Omugejjo.
  3. Okutandika okwegatta n’abasajja ng’okyali muto n’ebirala.

Minisita akubiriza abazadde okugemesa abaana baabwe kuba eddagala weeriri ate nga lya bwereere mu malwaliro ga gavumenti gonna. Era akuutira abakyala okunyiikira okwekebeza nga bukyali n’ababulina bajjanjabwe.

Bw’oba olina ky’oyagala okunnyonnyoka ku bikwata ku ddagala lino erya ‘HPV vaccine’ kuba ku nnamba ya ssimu eno 0800-100-066 eteri ya kusasulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa