TOP

Abalwadde b'amaaso balongooseddwa e Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2018

Abalwadde b'amaaso agaali gaaziba bazzeemu okulaba

Abasawongabalogosaomulwaddewebuse 703x422

Abasawo nga balongoosa omulwadde w'amaaso mu lusiisira e Masaka ku ddwaaliro.

Bya Stella Naigino

Oluvannyuma lw’okumala emyaka ng’eddwaaliro ly’e Masaka terifuna basawo b’amaaso, baasobodde okujjanjaba abalwadde abasukka mu 200 oluvannyuma lw’abasawo okuva e Buyindi n’aba wano ssaako aba Rotary Club of Kololo okukuba olusiisira lw’ebyobulamu ku ddwaaliro lino.

Catherine Nassali, akulira we bajjanjabira amaaso agamba nti eddwaaliro ly’e Masaka lyamala emyaka egisoba mu mukaaga nga tebalina alongoosa maaso.

“Abalwadde abasinga tubasindika Mulago kubanga wano tetulina busobozi. Abasinga kati babadde bazibidde ddala amaaso ate abalala tebalina busobozi bugenda Kampala,” Nassali bwe yagambye.

Wabula baafunye omukisa abasawo abava e Buyindi bwe bazze n’ebyuma ebirongoosa amaaso agaliko ensenke n’ago agaayimbaala era abantu bangi baakoleddwaako.

Nassali yategeezezza nti, ebyuma ebyaleeteddwa abakugu okuva e Buyindi byakusigala mu ddwaaliro naye eddwaaliro likyetaaga omukugu mu by’amaaso.

Charles Buwembo 48, y’omu ku balwadde BUKEDDE be yayogeddeko nabo agamba nti yafuna ensenke ku liiso mu 2008, ne bamulongoosa naye kati ekizibu kyali kizzeemu.

“Eriiso lino mbadde nalivaako nga ssente ze nasabibwa okulirongoosa zambula. Era nkozesezza omukisa guno okulongoosebwa,” Buwembo bwe yannyonnyodde.

Sarah Nalwoga 50, nga mutuuze w’e Kaliisizo naye teyalutumidde mwana. Ono aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’amaaso naye y’omu ku balwadde abaalongooseddwa amaaso.

“Mbadde sirina ssuubi lyakuddamu kulaba naye bwe bang’ambye nti waliwo okulongoosa amaaso ku ddwaaliro e Masaka ne nsitukiramu,” Nalwoga bwe yagambye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...