TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze by’oba olima mu nkuba eno ebifuna

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze by’oba olima mu nkuba eno ebifuna

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ENKUBA etandise okutonnya mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era waliwo ebintu by’osobola okusimba n’obifunamu ssente ate nga nkuwa akatale.

Tata 703x422

Omulimi ng’akuula omuddo mu nnimiro ya ‘Stevia’.

ENKUBA etandise okutonnya mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era waliwo ebintu by’osobola okusimba n’obifunamu ssente ate nga nkuwa akatale.

Ng’oggyeeko ebirime nga ennyaanya, kasooli, enva endiirwa, ebijanjaalo, ebinyeebwa n’ebirala osobola okulima ebintu ebitajjumbirwa balimi balala ate mwattu nga tebirina ndwadde zibirumba.

Kino kitegeeza togenda kuteeka ssente mu kufuuyira nga bwe kiri ku birime eby’enjawulo.

Ekimu ku birime ye kalittunsi owa ‘Lemon’ ono abalimi tebajjumbidde kumulima naye ate avaamu ssente okuva ku makoola, ng’okamulamu butto ate n’omusalamu embaawo ssinga aweza emyaka musanvu n’okudda waggulu.

Ekirungi ky’alina taliibwa nkuyege nga bw’olaba bwe ziyigganya ono owaabulijjo. Oluvannyuma lw’omwaka amakoola, ogakolamu ensaano, obuwoowo obugoba ensiri, amajaani n’amanda aganuuna obutwa mu mubiri.

Enkima bwe ziba zikutawaanya, musimbe ku nnimiro yo akawoowo ke kazigoba. Kalittunsi ono tayonoona ttaka, kalittunsi ayonoona ettaka alina amasanda agoonoona ettaka naye ono tagalina.

Bw’omusimba ku myaka musanvu omusalamu embaawo ate taboola ttaka. Bw’oba omulima tolina kweraliikirira kulumbibwa ndwadde.

Mu yiika mugendamu endokwa 1,000, osobola okutuguza amakoola oba tusobola okukufunira ekyuma ekimukamulamu butto n’omukamula era naye ne tumugula.

Kyokka mu mabanga ga kalittunsi osobola okusimbamu obusigo bwa ‘Flax’ buno babukolamu n’engoye za ‘lineni’ Abanigeria ze batera okwambala. Kkiro yaabwo ngigula 20,000/-.

Mu yiika osimbamu akakebe kamu akagula 10,000/- naye osobola okukungulamu kkiro 200, akatale nkalina. Bw’oba olina olusuku nga mulimu amabanga, simbamu obusigo buno, okusinga okulimamu omuddo nga tewali kirimu.

Flax akulira emyezi ena, kyokka olina okumukungula nga yaakatandika okwengera obutakunkumuka mu nnimiro. Obusigo buno buyamba mu kwogiwaza obwongo, kasala omugejjo n’ebirala.

Omulimi wa leero yandibadde alowooleza mu bintu by’alima ng’asobola okubigattako omutindo, okusinga okulima ekintu nga bbeeyi bw’eba wansi oba akatale ne kabula nga bikufa.

Ebirime ebirala by’osobola okulima kuliko Stevia, mu yiika weetaaga endokwa 1,000 naye yeetaaga kulimira ku bukata ate ayagala nnyo ekigimusa kya nnakavundira.

Mu kiseera kino kkiro egula 30,000/- ate asobola okuwangaala okumala emyaka 5 n’okusoba.

Simba akakomera omukamulwa butto nako osobola okukakolamu ssente kuba butto avaamu ayamba ku kiwanga, alaje, amagulu agazimbye n’ebirala.

Naye bw’oba tosobodde kukakamula, kkiro y’amakoola tugigula 100/- ate kyangu okukalima kuba mu yiika mugendamu endokwa.

Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...