TOP

Nkole ntya okwewala omwenge kuba ndi lubuto?

By Ruth Nazziwa

Added 24th September 2018

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?

Preg1webuse 703x422

Omusawo ng'awuliriza omukyala ow'olubuto okulaba ng'ali bulungi

Mpulira njoya omwenge era bwe mbeera sigulina waakiri mpunyiriza mu ccupa ne mpulira ku kawoowo kaagwo ne nzikakkana. Nkole ntya okugwewala?

Bw’obeera olubuto n’onywa omwenge kitegeeza nti n’omwana ogumuwa kuba maama ky’alyako n’omwana ky’alyako ng'ali mu lubuto.

Naye okunywesa omwana omwenge kiba kyabulabe kubanga gugenda butereevu ne gutuuka ku mwana nga guyita mu kirira.

Era bw’oguyitiriza kiyinza okuvaako omwana okukosebwa n’ozaala omwana nga takuze bulungi, ng'awewuka nnyo sso ng'era omwenge gukosa enkula y'obwongo bw'omwana ekibuleeta okunafuwa.

Ekibuuzo kiddiddwaamu, David Kalema omukugu mu kubudaabuda n’okujjanjaba abakozesa ebitamiiza n'ebiragalalagala okuva mu Hope and Beyond Rehabilitation Centre e Lubaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...