TOP

Ab'e Masaka basula ku bwerinde lwa batuuze butaba na kaabuyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

Endwadde eziva ku bujama zoolekedde okuliisa ab'e Kimaanya - Kyabakuza mu Masaka akagiri olw'abatuuze abagaanye okusima kaabuyonjo ng'ekuba olutonnya kazambi n'aggweera mu mayumba gaabwe.

Peacenakkungalagaakannyamwebetawulurizawebuse 703x422

Nakku ng'alaga akannya ke bakozesa awaka

Bya Phiona Nanyomo

Abatuuze ku kyalo Kasubi mu ggombolola ya Kimaanya - Kyabakuza ku njegoyego z'ekibuga Masaka beekuniza nga mafumbe ekivuddeko ebyobulamu mu kitundu kino okweraliikiriza abaliraanyeewo.

Abatuuze bagamba nti, baalemererwa okusima kaabuyonjo eziwangaala olw’ensonga nti ab’obuyinza mu kibuga Masaka buli mwaka babeera mu kubatiisatiisa nga bwe bagenda okubagoba ku ttaka.

Peace Nakku, omu ku batuuze agamba nti baludde ng’eddwaaliro likaayanira ettaka lino kwe bali era babeera mu kutya nti ssinga bassaako ebintu eby’omulembe byandifa ttogge nga noolwekyo baasalawo okusima obunnya obutonotono mwe bayinza okweyambira, nga buno bwe bujjula nga basima obulala eky’obulabe.

 akku ngalaga ekifo abatuuze we beeyambira nga basibyeko obudeeya Nakku ng'alaga ekifo abatuuze we beeyambira nga basibyeko obudeeya.

Bagamba nti, balaba nga bajja kusaasaanya ssente nnyingi okuzimba kaabuyonjo ate mu kaseera katono bagobwe ku ttaka lino nga tebaliyiriddwa.

Mu biseera by’enkuba kazambi yenna akulukutira mu mayumba g’abatuuze n’okwanjaala mu nguudo z’ebitundu ebiriraanyewo ekireetedde Bannamasaka okweraliikirira obulwadde obuyinza okubalukawo.

Kino kitabudde ssentebe w’eggombolola ya Kimaanya – Kyabakuza, Matia Kakooza ng’agamba nti abavunaanyizibwa ku byobulamu be batakoze kimaala okukangavvula abatuuze bano n’okubasomesa emigaso gy’okubeera ne kaabuyonjo.

 sentebe atia akooza Ssentebe Matia Kakooza

Yagambye nti, buvunaanyizibwa bw’abakulira ebyobulamu okukubiriza abatuuze bano okusima kaabuyonjo bave mu kwekwasa nga bwe bagobaganyizibwa ku ttaka kubanga kino kikwatira ddala ku bulamu bw’abatuuze bano.

Yayongeddeko nti, ssinga abatuuze bano tebakubirizibwa kuzimba kaabuyonjo kyandivaako okulumbibwa endwadde nga kkolera, omusujja gw’omu byenda n’endala eziva ku bujama.

Akulira ebyobulamu, Dr. Stuart Musisi alabudde abatuuze bano ku katyabaga ke boolekedde ne famire zaabwe ssinga tebeekubiriza kusima kaabuyonjo.

Abawadde amagezi nti bandibadde basima kaabuyonjo okusobola okwetangira endwadde kubanga okugema kusinga okuwonya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata