TOP

Bwe mwegatta ng’ozannyira kungulu, siriimu takukwata?

By Ruth Nazziwa

Added 17th October 2018

Akakodyo k'obadde olowooza nti tekakwasa siriimu bakafuludde, kozesa kondomu oziyize okulwala.

Arvwebuse 703x422

Eddagala lya ARV eriweweeza ku kawuka ka siriimu

Bya Ruth Nazziwa

Osobola okufuna akawuka ka siriimu ne bw’oba okozesezza akakodyo kano mu kwegatta kuba bw’ogatta ebitundu byo ebyekyama biba bimaze okusisinkana, era tomanya kiyinza kuvaamu naddala nga mwembi mulina obubwa ate nga kuliko akalina.

N’engalo z’okozesa zisobolaokubaako akabwa nga tomanyi omusaayi ne gwegatta ne munno ng’akalina n’akakusiigira awo.

Ate bwe mubeera mu kwenoonya okwekika kino, oyinza okusikirizibwa ekivaamu ng’oyingira mu kikolwa ky’otetegekedde ate nga tokozesezza kondomu kweziyiza kukwatibwa kawuka eky’obulabe.

Kino kiyinza okukubeerera ekizibu okujjukira okwekuuma ekikuteeka mu bulabe bw’okufuna akawuka ka siriimu n’endwadde z’ekikaba ez’enjawulo.

Ekibuuzo kino kiddiddwaamu, Dr. Kizza Lubega omukugu mu by’eddagala okuva mu ddwaaliro erijjanjaba n’okunoonyereza ku kawuka ka siriimu erya Makerere University Joint AIDS Program (MJAP) e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte