TOP

Engeri Siriimu gye yakwatamu abaana nga bajjanjaba kitaabwe

By John Bosco Mulyowa

Added 8th November 2018

Engeri Siriimu gye yakwatamu abaana nga bajjanjaba kitaabwe

Kab1 703x422

Abayizi nga bawanise ebipande ebiriko obubaka obw’okulwanyisa siriimu.

LEERO mu mboozi yaffe ekwata ku kawuka ka siriimu tukuleetedde ekyalo Magango mu muluka gw’e Gwanda eggombolola y’e Kyebe - Kannabulemu mu Rakai ng’eno omuntu amanyiddwa eyasooka okulwala siriimu gye yabeeranga ne bakyala be ababiri kw’ossa abaana be abasukka mu 10.

Abakyala n’abaana nabo baafa n’asigaza basatu bokka, abaasimattuka! Omugenzi Golodiano Kivumbi yafa mu July 28, 1982 oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa siriimu obwasaasaanira ekitundu kyonna naddala emiriraano gye nga n’amaka mangi ku kyalo kino gaasigala matongo!

Omugenzi Kivumbi yali musajja mufunyi ebiseera ebyo nga ye yali avunaanyizibwa ku by’envuba ku myalo egy’enjawulo okuviira ddala e Kasensero okutuuka e Kalangala ng’oluusi yagendanga n’e Tanzania okusuubula.

Mutabani we Girigorio Nnyanga eyali ow’emyaka 12 kitaawe we yafiira agamba nti, ebyali bigenda mu maaso mu myaka egyo byonna yabigobereranga bulungi era kitaawe ye yasooka okulabibwa ku kyalo ng’alwadde nga kigambibwa nti obulwadde yabufunira ku mwalo gw’e Kabanyaga mu Tanzania gye yali atera okubeera.

Agamba nti, amaka gaabwe gaafuuka ekikolimo ku kyalo ne famire yaabwe ne yeeyawulamu ng’abamu ku baganda ba kitaawe baali tebakyamwetaaga nga bamulumiriza okubaleetera omuteego ku kyalo, nga bamulumiriza nti alabika yabba ebintu ku b’eggwanga ly’Abakerebwe nga kati baali basindise eddogo!

Nnyanga agamba nti, yalaba kitaawe ng’aggwaawo era yatuuka ekiseera nga bamubikka mu ndagala kuba amasuuka gaali gamuyubulako eddiba ku mubiri nga balina kumubikka ndagala okwewala essuuka okumuyuzaako olususu!

Baganda be baamudduka olwo nze n’abamu ku bato bange ffe twamunyiganga era abamu ku baganda bange wano we baafunira obulwadde era nabo ne bafa oluvannyuma lw’ekiseera.

Maama naye yalwala n’afa nga wayise ekiseera kitono nga kitaffe amaze okufa mu 1982. Nasigala mu nnyumba ne baganda bange era lumu twagenda ewa kitaffe omuto nga mu nnyumba tutiddemu naye ono yatugobera ku mulyango nti, “Munviire mangu muzzeeyo ekikolimo kya kitammwe mu nnyumba yammwe temukituleetera wano!” Waayita akaseera katono ate obulwadde bwe bumu ne bwongera okusaasaanira ekyalo n’ebyalo ebiriraanyewo era wano Gavumenti n’ebitongole by’ebyobulamu by’ayongera okukola okunoonyereza ne bakizuula nti yali siriimu.

BANGI SIRIIMU BAAMUFUNIRA MU KUJJANJABA BAAGALWA BAABWE

Nkakasa nti bangi ku baafa siriimu ku byalo byaffe abamu tebaamufunira mu bikolwa bya kwegadanga, wabula n’enkwata y’abantu abaali balwadde n’ebintu ebyakozesebwanga okubajjanjaba ng’abamu banyiga ebizimba ng’ate balina amabwa ku ngalo ekyayongera okusaasaanya akawuka,” Nnyanga bwe yannyonnyodde.

ENJU YA KITAFFE YAFUUKA KYABULAMBUZI

Muwala wa Kivumbi, Lucia Nassonko yalombozze ennaku gye baayitamu nga bato, okwerabirira oluvannyuma lw’abazadde ne baganda baabwe okubafaako nga n’abamu baalemererwa okubaleeta okubaziika ku kiggya nga bangi baaziikibwa mu limbo mu ddwaaliro e Kitovu gye baatwalibwanga okufuna obujjanjabi. “Kitaffe yalina ssente nga muganzi mu bakazi ab’enjawulo era bwe yafuna obulwadde buno okuva e Tanzania ate n’abuleeta ne wano ne busaasaanira ekitundu.

Twalaba ekyalo nga kiggwaawo ng’abantu tuziika, wano tuziika wali, muba mwakamala okuziika omuntu mu famire emu ng’ate babika nti n’abadde ku ndiri afudde era ekyalo kino bw’okyetooloola abantu bangi baafa n’amaka agawerako kati gali mu nsiko.

Enju ya kitaffe kati yafuuka kyabulambuzi era tusaba Gavumenti etuyambe okugizzaawo. Abantu bajja okwerabira ku maka g’omuntu eyasooka okufa siriimu.” Wadde kitaabwe yalina ssente naye bamulekwa beeyaguza luggyo nga n’ennyanja kwe baali bafuna ssente amaato gaabwe amagye agalwanyisa envuba embi ku nnyanja gaagasaanyaawo n’okuggala omwalo gwabwe!

Ennyumba yasuulibwa musisi eyayita e Rakai gye buvuddeko. Basiimye ebitongole nga Rakai Health Sciences Program ekyasooka okukola okunoonyereza ne bazuula nti kitaabwe yali alwadde siriimu ekyayamba okutandika okubudaabuda abantu n’okuyambako okuwa obujjanjabi okutaasa ekyalo nga kati wadde bangi baafa kyokka ekitongole kino kikyaliyo kiwa abantu obujjanjabi n’okuyambako ku bamulekwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa