TOP

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma nga malamu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2018

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 703x422

Omwana ng'alya ebikajjo, bino biyamba mu kuyonja amannyo g'omwana ne gatalwala

Bya Hafswa Nankanja

Amannyo kimu ku bitundu by’omubiri ebirabisa omuntu obulungi. Ng’oggyeeko ekyo, amannyo ge gayamba omuntu okugaaya n’asobola okubeezaawo obulamu.

Amannyo ssinga tegalabiriddwa bulungi naddala mu baana galwala, okumenyeka, okuvunza ekibuno n’okulemesa omwana okulya.

Ng’omuzadde kikukakatako okufaayo okuyonja amannyo g’omwana galeme kufuna buzibu mu maaso.

 mwana bwamaliriza okunywa ku ccupa ngomuyonja akamwa Omwana bw'amaliriza okunywa ku ccupa ng'omuyonja akamwa

 

Dr. Janat Najjuma, omusawo w’amannyo mu PAED Medical Centre annyonnyola nti, “Amannyo g’abaana tegalina bintu bigalwaza wabula endabirira. Era n’ebyokulya bw’owa omwana tebirina we bimulwaliza ssinga ogayonja bulungi.

Amannyo gatawaanyizibwa obuzibu obw’enjawulo ng’okujjamu ebituli ne galuma.

Okulwala kw’amannyo kusinga kubaawo mu kiro lwa nsonga nti obuwuka bwonna obwetaagibwa n’obwo obw’obulabe bwonna bubeera busaanikiddwa mu kamwa ng’obunidde. Era butandika okulya emmere gye walese ku mannyo nga bwe bukkuta bufulumya obucaafu obulimu asidi agenda ku mannyo go n’agalwaza.

 mukyala ngalongoosa akamwa komwana ngamaze okunywa amata Omukyala ng'alongoosa akamwa k'omwana ng'amaze okunywa amata

 

Okwewala kino oteekeddwa okuyonja amannyo g’omwana buli kiseera w’amalira okulya oba okunywa ekintu kyonna. Kino bwe kiba ekizibu, waakiri omusenya emirundi ebiri olunaku.

Osobola okukozesa akasenya, ppamba atafuumuuka, akagoye akayonjo era ng’okafumbyeko mu mukka gw’oku mmere okusinziira ku myaka gy’omwana n’obukulu bw’amannyo.

Kyokka akasenya n’eddagala by’okozesa biteekeddwa okuba nga bya baana bato. Era teweerabira kwoza ku lulimi kuba nalwo lutereka emmere esikiriza obuwuka bw’amannyo.

 mwana ngasenya amannyo kirungi akikole buli lwamala okulya oba okunywa naddala ebiwoomerera Omwana ng'asenya amannyo, kirungi akikole buli lw'amala okulya oba okunywa naddala ebiwoomerera

 

Omwana atandika ddi okusenya?

  1. Ekiseera omwana w’afulumiza erinnyo lye erisooka, kikukakatako ggwe omuzadde okuddukirawo ew’omusawo omutendeke mu by’amannyo akubuulire bw’olina okugalabirira.
  2. Omwana omuto oteekeddwa okumusenya okutuuka ng’akuzeemu n’asobola okuyiga okwesenyesa.
  3. Bw’oba omusenyesa olina okubeera omwegendereza oleme kuggyako kasusu ka linnyo akalikuuma n’okumuleeta amabwa ku bibuno kuba gano gayinza okuyitamu obuwuka ate ne bugalwaza.
  4. Bw’amala okulya, yisaawo eddakiika nga 30, omunyumunguze mu kamwa n’oluvannyuma omusenye. Senya nga bwe weetoolooza akasenya.
 r ajjuma ngakebera amannyo gomwana Dr. Najjuma ng'akebera amannyo g'omwana

 

Ebivaako amannyo g’abaana okulwala

Okulya n’okunywa ebintu ebiwoomerera kyokka n’otonyumunguza mu kamwa.

Okuleka eccupa ya caayi mu kamwa k’omwana nga yeebase.

Ebiyamba mu kukuuma amannyo amalamu era amagumu

Osobola okumuwa ku bikajjo.

Emiyembe egy’obugoogwa emito.

Okugakuuma nga mayonjo n’ebirala.

Wabula buli luvannyuma lw’ekiseera mutwale ew’omusawo w’amannyo amukebere okuziyiza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe