TOP

Enkozesa ya kondomu eneekutangira endwadde z'ekikaba

By Ruth Nazziwa

Added 21st February 2019

Okwesunga akaboozi ekisusse kiremesezza bangi okukozesa kondomu

Condomismaelssempumatestimonywebuse 703x422

Ismael Ssempuma ng'alaga kondomu z'agamba nti akozesa ng'enkola y'okuteekerateekera amaka

Ng’oteekateeka okwetaba mu kikolwa ky’okunyumirwa omukwano ne munno, sooka olowooze ku kwekuuma ng’oyambala kondomu. Ku Lwokusatu nga February 13, Uganda yeegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kondomu ku mukolo ogwali ku mwalo e Ggaba. Ekigendererwa kyali kya kwongera okujjukiza abantu nti siriimu akyaliwo naye nga tusobola okumwewala mu maaso nga tukozesa kondomu mu butuufu bwazo tulyoke tunyumirwe ekikolwa ky’omukwano nga twekuumye ‘safer is fun’ ng’omubala gw’omwaka guno bwe gugamba.

Ismael Ssempuma ow’e Makindye agamba nti,Ffe kondomu tuzikozesa ng’enkola y’okuteekerateekera amaka era zitukolera bulungi nga kati  tulina abaana babiri.

Twatandika okuzikozesa nga mukyala wange amaze okuzaala omwana waffe asooka. Yasooka kukozesa nkola ya mpiso wabula teyakwatagana na mubiri gwe ng’emumalamu amazzi era emyezi esatu gye yagimalako tetwafuna ku ssanyu lyonna okutuusa lwe twaddayo mu ddwaaliro.

Bwe baatusomesa ku nkola za famire endala, twakkaanya ne tusalawo okukozesa kondomu nga kati tulina abaana babiri. Era nkubiriza abantu okuzettanira.

F. K, e Ggaba: “Kondomu nze ze zinkuumye nga nkyali mulamu era siyinza kuzivaako okuggyako nga nfumbiddwa”.

Nze ku mwalo naggyako nga nnina emyaka 14 nga nkyaliddeko ssenga wange okumuyambako emirimu mu luwummula. Naye ekiseera kyatuuka ssenga n’atandika okunsendera abasajja ne bankozesa nga bamusasula era ku myaka 16 gwali gufuuse mulimu.

 astha ibirige okuva mu inisitule yebyobulamu ngasomesa ku nkozesa ya kondomu Vastha Kibirige okuva mu Minisitule y'ebyobulamu ng'asomesa ku nkozesa ya kondomu

 

Eky’omukisa omulungi, buli mwezi nga tufuna abasawo ne batukebera akawuka n’okutusomesa ku siriimu nga batugabira ne kondomu ne njiga okuzikozesa.

Naye lwe baasooka okunkebera sakikkiriza nti ndi mulamu kuba nali nneebaka n’abasajja ab’enjawulo nga tetwambadde anti lw’ofuna ku ssente eziwera.

Naye bwe bankebera enfunda nda sirina kawuka, neekuba mu mutima ne nyiikira okuzikozesa era nga nziteeka mitwetwe.

Mu kiseera kino omulimu guno naguvaamu kuba nali ngukooye olw’okutulugunyizibwa abasajja ate nga toggwebwako ndwadde za kikaba ne nkyusa ekifo era kati ntunda mmere.

‘Abantu 5 ku buli 10 be bakozesa kondomu’

Henry Magala, atwala eddwaaliro erijjanjaba n’okubudaabuda abantu abalina akawuka ka siriimu erya Uganda Cares e Bukoto agamba nti, okunoonyereza kulaga nti, ensangi zino bw’ogatta awamu abakyala n’abaami, ku buli bantu 10 b’olaba, osangako abantu bataano bokka abakozesa kondomu. 

Ate ng’abasajja ebituntu 60 ku buli 100 bajjumbira okukozesa kondomu ate ng’abakazi 45 ku buli 100 nabo bazikozesa.

Kino kitegeeza nti, abasajja be basinga okwettanira kondomu kubanga ebiseera ebisinga be basalawo ddi lwe mwegatta ne lwe mukozesa kondomu.

Era ssinga tusobola okubwewala nga tukozesa kondomu mu butuufu bwazo, tusobola okumwang’anga mu maaso kubanga bwe weetaba mu kikolwa ky’omukwano ng’oyambadde kondomu, ekuwa obukuumi bwa bitundu 95 ku buli 100 egy’obutafuna kawuka ka siriimu.

 ric amya gaba trading entre agamba nti ifangayo kumanya ku nkozesa ya kondomu naye nga nkimanyi nti kya buvunaanyizibwa okugikozesa nga bazikusomesezza noyiga bulungi naddala nga muli mu bufumbo ngomu alina akawuka ne muteesiiga ukyala wange baamuzuula ngalina akawuka ate nga nze sikalina naye ebbanga lye tuwangadde ffembi nneekebeza emirundi mingi  ngebivaamu tebikyuka ye nkola nyiikira okwekuuma nokwekebeza buli abasawo lwe bajja mu kitundu kyaffe ne bongera okutukuutira  okwekuuma Eric Kamya, Ggaba trading Centre agamba nti," Sifangayo kumanya ku nkozesa ya kondomu naye nga nkimanyi nti kya buvunaanyizibwa okugikozesa nga bazikusomesezza n'oyiga bulungi naddala nga muli mu bufumbo ng’omu alina akawuka ne muteesiiga. Mukyala wange baamuzuula ng’alina akawuka ate nga nze sikalina naye ebbanga lye tuwangadde ffembi nneekebeza emirundi mingi ng’ebivaamu tebikyuka. Kye nkola, nyiikira okwekuuma n'okwekebeza buli abasawo lwe bajja mu kitundu kyaffe ne bongera okutukuutira okwekuuma.

 

 Lwaki olina okukozesa kondomu?

  1. Kondomu esobola okutuuka buli omu ekyanguyira buli muntu okuzikozesa. 
  2. Kondomu zikozesebwa mu kikolwa ky'omukwano era bw’ogyambala obulungi, eteekawo olukomera okuziyiza endwadde z'ekikaba nga siriimu, nkumunye (chachrioid), kabootongo, enziku, embaluka, obulwadde bw’ekibumba n'endala.

    Era ziziyiza n’okufuna olubuto lw’oteetegekedde.

 Endwadde endala ng'ekinaanansi, ensundo z'omu bitundu byekyama, kookolo w'omumwa gwa nnabaana n'endala.

  1. Mu bantu abalina akawuka, kondomu ziziyiza okuwanyisiganya akawuka ka siriimu wakati w'abalwadde ababiri oba atalina kawuka okusiiga akalina.  
 rovin ushabe e gaba agamba nti we kiba ngomuntu gwoli naye tomwesiga ate nga tayagala kwekebeza mukozese kondomu okwewala okusiigibwa endwadde zekikaba nga siriimu kabootongo nendala  Provin Tushabe e Ggaba agamba nti, "Bwe kiba ng’omuntu gw'oli naye tomwesiga ate nga tayagala kwekebeza, mukozese kondomu okwewala okusiigibwa endwadde z’ekikaba nga siriimu, kabootongo n’endala.

 

 Okusoomoozebwa okuli mu kukozesa kondomu

  1. Okweganya: Vastha Kibirige (maama kondomu) okuva mu minisitule y’ebyobulamu agamba nti, kondomu y’abakyala tekoze bulungi kubanga erina emitendera mingi ate ng’abasajja omukwano bwe gubatemba babeera mu bwangu, tebeetegese kugigoberera ne bazivaako. 
  2. Ensonyi: Abantu abasinga bakwatibwa ensonyi okugula kondomu nga babalaba, okuggyako nga bazisanze mu bifo ebyekusifu nga mu kaabuyonjo. 
  3. Okusongebwamu emimwa: Abamu bwe balaba bannaabwe nga bagula kondomu, bakutwala nga malaaya oba nti ogenda mu bwenzi era okukkakkana ng’eyandizikozesezza naye bamulemesezza.
  4. Entondo z'omubiri: Abantu abamu emibiri gyabwe girina entondo ku bika bya kondomu ebimu ekibaviirako okufuna obukosefu ku mubiri buli lw’abukozesa. Omuntu bw’aba yagifunamu obuzibu, tayinza kuziddira okuggyako ng'abasawo bamuwadde ebika ebirala by’asobola okukozesa.

         Oluusi abamu bazizira olw'engeri gye ziwunyamu.

  1. Okuzikozesa obubi: Abalala balemesebwa lwakuba tebamanyi kuzikozesa era bazambalira ku bikukujju kubanga tebannaba kusomesebwa bulungi ku nkozesa ya kondomu.
  2. Obwavu: Waliwo n’abandyetaaze okukozesa kondomu naye nga tebalina ssente za kuzigula ne basalawo okugendera awo.
  3. Tezimala: Kondomu tezinnaba kubunyisibwa mu ggwanga lyonna naddala mu byalo. Omuntu omu oyinza okumuwa kondomu 30 omwezi okusobola okuba n’obukuumi obumatiza naye okunoonyereza kulaga nti, omuntu omu ayinza okuba ng’akozesa kondomu mukaaga omwezi ekiraga nti tezimala okusinziira ku bwetaavu bw’abantu.
  4. Okukozesa omwenge n’ebitamiiza: Abantu bwe babeera batamidde batera okwerabira okwambala kondomu. Omubiri bwe gutuuka mu bwetaavu, abantu bangi beerabira okwambala kondomu ne bagenderawo ekivaako okukwatibwa endwadde.
  5. Okwesunga ekisusse: Oluusi mwefubitika akafubo ng’ogenze weetegese okwambala kondomu naye bw’otuukayo embeera n’ekyuka n’omaliriza nga togyambadde.
 ichard iwanuka ibiri  agamba nti ondomu nnungi okuggyako ngenkozesa yebade enkyamu kubanga bwokakozesa tofuna kawuka ka siriimu nendwadde endala ezekikaba aye oluusi oyinza okukola ensobi kondomu nogyambalira ku bikukujju nofuna akawuka Richard Kiwanuka, Kibiri 'B' agamba nti, "Kondomu nnungi okuggyako ng’enkozesa y'ebade enkyamu kubanga bw'okakozesa tofuna kawuka ka siriimu n’endwadde endala ez'ekikaba. Naye oluusi oyinza okukola ensobi kondomu n'ogyambalira ku bikukujju n'ofuna akawuka.

 

 Kondomu za bika bibiri omuli:                                    

  1. Kondomu z'abasajja: Kondomu zaawukana mu bika n'ensabika naye nga ze zimu mu ndabika n'engeri gy’ozikozesaamu.    

Engeri gy’oyambalamu kondomu

Kwata ensonda z'akaveera olyoke okayuze n'oluvannyuma okaggyemu. Kwata ku mugo gw'akapiira kano waggulu ne ku nywanto eri ku ntobo y'akapiira oginyigeenyige okusobola okugiggyamu empewo ereme kwabika.

Bw’omaliriza, giteeke ku busajja obuyimiridde obulungi ogizingulule mpolampola okutuusa lw’otuuka ku kakomo.  

Akapiira kakozese omulundi gumu ku buli mulundi okuziyisa okwabika n’okuseererako ekiyinza okuvaako okukwatibwa akawuka.

Era bwomaliriza okugikozesa, gizinge mpola okutuusa lw’evaako ogisibe okuziyiza amazzi okuyiika n’oluvanyuma ogisuule mu kaabuyonjo. 

  etty ai bunga agamba nti irungi okwettanira kondomu kubanga zitangira embuto zoteeyagalidde nendwadde zekikaba ra okukolera obulungi olina okwetegereza obulungi nga munno agisumulula kuba erina kuba mpya Betty Kai Bbunga agamba nti, "Kirungi okwettanira kondomu kubanga zitangira embuto z'oteeyagalidde n’endwadde z'ekikaba. Era okukolera obulungi, olina okwetegereza obulungi nga munno agisumulula kuba erina kuba mpya.

 

 2. Kondomu z'abakyala:

Okwawukanako ne kondomu z'abasajja, kondomu z'abakyala nnene ate ngazi naye ng'okuzifuna, omukyala asooka kusomesebwa nkozesa yaazo. Bw’agiyiga okugikozesa kimuyamba okwesalirawo mu mukwano ekimusobozesa okwekuuma endwadde z'ekikaba n'okufuna embuto z’ateetegekedde.  

Enkozesa  yaazo

Kondomu eno erimu akaweta ku ntobo yaayo, kwata akaweta ako n'engalo bbiri okanyige n'oluvannyuma wanika okugulu ku kitanda oba ositame olyoke okasonseke mu bukyala. Akaweta ako bwe kayingira katuula ku mumwa gwa nnabaana okusobola okutereera obulungi.

 eneth gombi e unyonyo agamba nti  ze sseetaaga kukozesa kondomu nga ndi ne mukyala wange kubanga tulina okuzaala ra nfuba okwekebeza emirundi  mingi okukakasa nti ndi mulamu kuba munnange tomanya munno byakola wotobeera Keneth Ngombi e Munyonyo agamba nti, " Nze sseetaaga kukozesa kondomu nga ndi ne mukyala wange kubanga tulina okuzaala. Era nfuba okwekebeza emirundi mingi okukakasa nti ndi mulamu kuba munnange tomanya munno by'akola w'otobeera.

 

 By'olina okwekkaanya:

  1. Agitunda alina okubeera mu kifo ekituufu naddala mu malwaliro oba amaduuka agatunda eddagala.
  2. Ennaku z'omwezi ezaagiweebwa zirina okuba nga zikyaliko okusobola okukakasa nti ekyali nnamu.
  3.  3. Kakasa nti tekukudde.
  4. Kakasa nti ekyasabikiddwa bulungi nga tonnagisumulula.  

Kondomu ennungi erina kufaanana etya?    

Bw’ogikwata mu ngalo nga tonnagisumulula, ginyigeenyige okukakasa nti ekyalimu omukka ekikakasa nti teriiko katuli konna kayisa mukka oba okuyingiza obuwuka obuyinza okugyonoona.      

Erina okubeerako erinnya gy’ekolebwa era ng'erambiddwa bulungi. 

Tokozesa kintu kisongovu kyonna okusumulula akaveera akalimu akapiira kubanga osobola okugireetako ekituli.                        

 kondomu eza langi kondomu eza langi

 

 

Engeri ennungi gy’olina okuterekamu kondomu

  1. Totereka kondomu mu nsawo ya ssente oba ey'empale kuba zisakiramu ebbugumu n'okwekuuta ekizinafuya.
  2. Kondomu tezeetaaga bbugumu lisukkiridde kubanga lizinafunya ne zoonooneka, mu mbeera eno, tozitereka w’ofumbira.
  3. Zitereke mu kifo ekikalu obulungi nga kiweweevu ekimala zireme kukukula.
  4. Tozitereka baana we basobola kuzirabira oba okuziggya ne bazizannyisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke