TOP

Gwe bazaala n'amagulu ana asula akaaba lwa bulumi mu kkundi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th February 2019

Omwana Hadijah Namuganza eyazaalibw an'amagulu 4 ali ku bulumi bwa kkundi erikyetaaga okulongoosa

Namuganzahwebuse 703x422

Kyakuwayire n'omwana Namuganza eyeetaaga okulongoosa ekkundi

Bya Tom Gwebayanga

Abazadde b’omwana eyazaalibwa n’amagulu 4 emitima gikyabeewanise abasawo bwe bamulongoosezza ne bamusalako amagulu abiri (2) kyokka ate ne bakabatema nga bwe bakyetaaga 1,500,000/- okulongoosa ekkundi, erimusuza ng’akaaba olw’obulumi.

Julius Kiiya ne Zulaina Kyakuwaire abatuuze b’e Kisaikye mu ggombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende balimi, wabula essanyu ly’okuzaala lyasasika mu October wa 2018, bwe baazaala Hadijah Namuganza ng’alina amagulu 4.

 mwana amuganza bwafaanana nga bamaze okumusalako amagulu abiri Omwana Namuganza bw'afaanana nga bamaze okumusalako amagulu abiri, wano ng'ali ne bazadde be

 

Bazze banoonya abazirakisa, okutuusa lwe baatuuka e Mulago mu Kampala abaabayamba okusasula ssente z’okumulongoosa okusalako amagulu abiri, obuzibu ne busigala ku kkundi.

“Awamu twetaaga 1,500,000/-, naye ssente tetulina kuba tuli balimi ate n’akatono ke tufunawo kati kagenda ku kwebeezaawo n’omwana,” Kiirya bwe yagambye.

Nnyina wa Namuganza agamba nti, ono mwana waakutaano era tamanyi buzibu we bwava.

amugana nga bwe yazaalibwa nga tannalongoosebwaNamugana nga bwe yazaalibwa nga tannalongoosebwa

 

ABAKUGU KYE BAGAMBA

Eyakulidde ttiimu y’abasawo abaalongoosezza omwana, Dr. Kakembo agamba nti abaana ng’ono bijja olw’okutaataaganyizibwa okubaawo ng’omwana atondebwa mu lubuto.

Yakakasizza nti abaana bano baalina kuba balongo omu ne yeegatta ku munne kwe kugabana amagulu n’ekkundi.

Basaba abalina obuyambi babadduukirire nga bakuba ku nnamba za ssimu 0758819327, 0786920160 oba 0785920115.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira

Rat2 220x290

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola...

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Hit 220x290

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo...

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo awonya obwannabukalu mu bakyala ssaako n'amaanyi g'ekisajja ? Soma wano mu mboozi...