TOP

Aba Rotary basiimye Sr. Nakafeero olw'obuweereza

By STEVEN MUSOKE

Added 5th March 2019

Sr. Jane Nakafeero asiimiddwa aba Rotary olw'obuweereza bw'akoze okumala emyaka 20 ng'ajjanjaba abantu.

Srs2webuse1 703x422

Meeya w'ekibuga Mukono, George Kagimu (owookubiri ku kkono) ng'akwasa Sr. Jane Francis (owookubiri ku ddyo) ekirabo, ate ku kkono ye pulezidenti wa Rotary Club ya Mukono Henry Luzinda.

Bya Steven Musoke

AKULIRA eddwaaliro ly’e Naggalama, Sr. Jane Francis Nakafeero asabye Gavumenti okubongera ku buyambi bw’ebawa  nti kuba bw’ebawa butono bw’ogeraageranya n’obwetaavu mu kitundu.

Bino Sr. Jane Francis yabyogeredde mu Colline Hotel e Mukono ku mukolo aba Rotary Club kwe baamukwasirizza engule n’ebirabo okumusiima ng’omuweereza asukkulumye ku balala.

Yagambye nti, eddwaaliro lino liyamba abantu bangi mu Disitulikiti y’e Mukono n’abo abakozesa oluguudo lw’e Bugerere nti naye obuyambi Gavumenti bw’ebawa butono ddala bw’agamba nti ku bajeti yaabwe bukolako ebitundu 4 ku buli 100.

eeya wekibuga ukono ames agimu wakati ngakwasa r ane rancis ekirabo ate ku kkono ye pulezidenti wa otary lub ukono enery uzindaMeeya w'ekibuga Mukono James Kagimu (wakati) ng'akwasa Sr. Jane Francis ekirabo ate ku kkono ye pulezidenti wa Rotary Club Mukono Henry Luzinda.

Yagambye nti balina abakozi 152 be basasula omusaala kyokka ng’omuwendo gw’abantu abagenda mu ddwaaliro lino olw’endwadde zinnamutta ng’obulwadde bwa sikoseero okweyongera. Amafuta n’amasannyalaze bye bisinga okubakaluubirira.

Sr. Jane Francis amaze emyaka 20 mu buweereza bw’obusawo ng’okugenda e Naggalama yasookera Nyenga.

Omu ku Bannalotale  Mike Kutosi, yagambye nti buli mwaka balondayo omuntu ayitimuse mu buweereza era ng’omwaka guno baalonze Sr. Nakafeero okusinziira ku bbanga lye bamaze nga bamugoberera mu nkola ye ey’emirimu.

Ate Meeya wa Mukono, James Kagimu yeebazizza Sr. Jane Francis olw’okusitula omutindo gw’ebyobulamu mu kitundu era n’amusaba okugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknwc1 220x290

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza...

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira...

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...