TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Minisitule y’ebyobulamu esitudde buto ku kulwanyisa omusujja gw’ensiri

Minisitule y’ebyobulamu esitudde buto ku kulwanyisa omusujja gw’ensiri

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

Minisitule etadde ssente endala mu kulwanyisa omusujja gw'ensiri

Marelia1webuse 703x422

Dr. Yonas Tegen akiikirira Word Health Organisation mu Uganda (ku kkono) ne Dr. Jimmy Opiga akulira Malaria Control Programme nga bali mu lukung'aana lwa Bannamawulire.

Bya Paul Kakande

Minisitule y’ebyobulamu ng’eyita mu kitongole kya Malaria Control Programme etongozza kaweefube mw’egenda okuyita okumalawo obulwadde  bw’omusujja gw’ensiri ogusinga okutta abantu mu ggwanga.

Dr. Jimmy Opigo, akulira ekitongole kya Malaria Control Programme ategeezezza nti Gavumenti erudde ebbanga ng’eteeka ssente mu kulwanyisa endwadde y’omusujja gw’ensiri kyokka nga ssente zino zibadde tezimala, naye ku mulundi guno basazeewo okwongera ssente mu kaweefube ono nga zigenda kwongerwako ebitundu 60 ku 100 okusobola okulwanyisa ekizibu kino.

Dr. Opigo ategeezezza nti, Uganda limu ku mawanga agali wansi w’eddungu Sahara omusujja gw’ensiri gye gusinga okukosa abantu wabula nga mu kiseera kino era ly’eggwanga erisoose mu Afrika okuvaayo n’amaanyi okulwanyisa omusujja guno.

katimba kensiri kaziyiza okulwala omusujja gwensiri Akatimba k'ensiri kaziyiza okulwala omusujja gw'ensiri

 

Annyonnyodde nti, okusobola okutuukiriza  ekigendererwa ky’okumalawo omusujja guno minisitule y’ebyobulamu efunye obuyambi okuva mu kitongole ky’Amawanga Amagatte ekya World Health Organisation, nga kino ky’ekigenda okuwaayo ensimbi ezisinga obungi  ezeetaagisa mu kaweefube ono.

Dr. Yonas Tegeng akiikirira WHO mu Uganda ategeezezza nti, Uganda kati ly’eggwanga erikulembera mu Afrika mu kaweefube w’okulwanyisa  endwadde y’omusujja gw’ensiri era nga y’ensonga lwaki UN ng’eyita mu kitongole kyayo eky’ebyobulamu esazeewo okwongera okuwagira Uganda.

Mu bigenda okukolebwa mulimu: okwongera okusomesa abantu ku musujja gw’ensiri nga beeyambisa emikutu gy’amawulire egiweereza mu nnimi ennansi, okwongera ssente mu kugula obutimba obugabibwa ku bwereere, okuwa ssente abakugu abali mu mulimu gw’okunoonyereza ku bulwadde buno n’okuyamba ku kkampuni za wano ezivuddeyo okukola ebintu nga langi ne balubu z’amasannyalaze ebigoba ensiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Kenya okutukuba tejja kutulemesa...

ABAWAGIZI ba Rugby aba ttiimu ya Uganda baasoose kukuba nduula za luleekereeke nga balowooza nti ttiimu yaabwe...

Mazike 220x290

Fresh Daddy abawala batandise okumwerippa...

OBWASSEREEBU tebuva wala naye ne Fresh Daddy manya taata wa Fresh Kid bwe yayimbye ‘Mazike’ kati takyava mu bbaala...

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...