TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abakyala balabudwa ku kabi akali mu kunaabisa sooda mu bitundu byekyama

Abakyala balabudwa ku kabi akali mu kunaabisa sooda mu bitundu byekyama

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

Abakyala balabudda ku kwesonseka katunguluccumu n'okunaaba sooda mu bitundu by'ekyama okwewala okulwala.

Sam1290webuse 703x422

Jennipher Namusiitwa ng'annyonnyola ku kukozesa ebintu eby'enjawulo mu bitundu byekyama

Bya Jaliat Namuwaya

Abakyala balabuddwa ku kabi akali mu kwesonseka ebintu nga katunguluccumu n’ebiragalalagala ebirala mu bitundu byekyama nga kw’otadde okunaabisa sooda nga balowooza nti kino kye kijja okubayamba okwetangira endwadde ezitera okubakwata mu bitundu bino.

Okulabula kuno kukoleddwa omusawo omukugu mu nsonga z’okuzaalisa ku ddwaaliro ly’abakyala e Mulago, Jennipher Namusiitwa.

Namusiitwa annyonnyodde nti, ebintu nga sooda birimu asidi mungi era bw’obikozesa okunaaba mu bitundu bino bitta obutonde bw’omukyala olwo ne kiwa omwagaanya obuwuka okuyingira n’okukulwaza.

bamu ku bakyala abeetabye mu kusoma nokukeberebwa okwobwereere okwakoleddwa e ulago ku ddwaaliro lyabakyala wano nga baliko bye bannyonnyolwa omusawoAbamu ku bakyala abeetabye mu kusoma n'okukeberebwa okw'obwereere okwakoleddwa e Mulago ku ddwaaliro ly'abakyala, wano nga baliko bye bannyonnyolwa omusawo.

 

Emirundi egisinga abakyala bwe babeera baakamala okuzaala ekisinga okubabobbya omutwe y’engeri gye bayinza okuddamu okufunza omubiri era wano we batandikira okuweebwa amagezi ag’obulimba ng’okunaabisa  sooda ne katunguluccumu kyokka nga bya bulabe.

Mu ngeri eno, abakyala baweereddwa amagezi okwettanira dduyiro nga bamaze okuzaala nga y’engeri omubiri gye guyinza okuddawo ne gufunda nga tofunye buzibu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka