TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abavubuka b'omu ghetto y'e Kamwokya baleese kaabuyonjo eneegoba abantu ku kufuluma mu buveera

Abavubuka b'omu ghetto y'e Kamwokya baleese kaabuyonjo eneegoba abantu ku kufuluma mu buveera

By Musasi wa Bukedde

Added 8th March 2019

Abavubuka b'omu ghetto y'e Kamwokya bakoze kaabuyonjo eneegoba endwadde eziva ku kumansa kazambi mu kitundu kyabwe

Toilet1webuse 703x422

Patrick Mujuzi ng'alaga kaabuyonjo ekoleddwa mu baketi okuyamba ku b'omu ghetto

Bya Emmanuel Ssekaggo

Mu biseera bino ng’enkuba etandise okutonnya abantu bangi naddala ababeera mu nzigotta batandise okutawaanyizibwa endwadde naddala eziva ku bujama ne basaasaanya ssente nnyingi okwejjanjaba ate ng’oluusi ne ssente tebazirina ekivaako okubonaabona olumu n’okufa.

Ekizibu ky’endwadde  ebiseera ebisinga biva ku kuba nga mu bitundu by’enzigotta abantu abasingayo tebalina kaabuyonjo era ng’abamu ku bo beeyambira mu buveera bwe bamansa buli wamu ekivaako okulwala.

 atherine angal ngalaga enfanana ya kaabuyonjo ekika kino Catherine Sangal ng'alaga enfanana ya kaabuyonjo ekika kino.

 

Patrick Mujuzi, akulira ekibiina kya Ghetto Research Lab e Kamwokya nga ye musaale mu kuyigiriza abantu enkozesa ya kaabuyonjo eno agamba nti, olw’okwagala okusalira ekizibu kino amagezi, abavubuka mu nzigotta z’e Kamwokya nga bayambibwako abakugu okuva mu kibiina kya Welthungerhilfe okuva e German baleese kaabuyonjo eziyitibwa ‘Composed Toilet’ esuubirwa okuba ey’enkizo ennyo mu bitundu by’enzigotta mu kuyamba abatuuze obutamansa kazambi buli we basanze.

Kaabuyonjo eno ezimbibwa mu mbeera eyagala okufaanana kaabuyonjo enzungu wabula eky’enjawulo ku yo kiri nti, ekozesa baketi n’empumbu eva ku mbaawo.

 ujuzi ngalaga baketi ekozesebwa nga kaabuyonjo Mujuzi ng'alaga baketi ekozesebwa nga kaabuyonjo

 

Okukozesa kaabuyonjo eno olina okusooka okuyiwa empumbu y’emiti mu baketi olwo n’olyoka ogyeyambisa. Bw’omaliriza era ng’oddamu oyiwako empumbu okubikka ebigenzeemu. Kino okukikola buli mulundi gw’ogendamu.

Okukozesa kaabuyonjo eno olina okuba ne baketi ssatu, emu y’eyo gye weeyambamu, endala ng’erimu empumbu ate eyookusatu erina kubeera nga ya bulindaala ssinga gy’oba okozesa ejjula ng’okozesa eyo.

 ames araza ngalaga kaabuyonjo eno ngebikkiddwaako bulungi James Baraza ng'alaga kaabuyonjo eno ng'ebikkiddwaako bulungi

 

Baketi esooka bw’ejjula waliwo ekifo ekitegeke obulungi nga gy’olina okuyiwa empumbu eno nga wano bakolamu ebigimusa.

Mujuzi agamba nti, kaabuyonjo eno ssinga abantu bagyettanira ejja kuyambako mu kumalawo ekizibu ky’okumansa kazambi naddala mu bitundu eby’omugotteko.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe