TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Minisitule y’ebyobulamu esalire kazambi ava mu ddwaaliro e Kawempe amagezi

Minisitule y’ebyobulamu esalire kazambi ava mu ddwaaliro e Kawempe amagezi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Kazambi akulukutira mu batuuze abaliraanye eddwaaliro ly'e Kawempe abeeraliikirizza ne basaba minisitule y'ebyobulamu ebadduukirire nga tewannabalukawo ndwadde.

Eddwaalirolyekawempenennyumbazabantukazambimwakulukuttirawebuse 703x422

Eddwaaliro lya Kawemoe n'ennyumba z'abatuuze omukulukutira kazambi

Bya Reginah Nalunga

ABATUUZE b’e Kawempe baagala minisitule y’ebyobulamu ebadduukirire olwa kazambi  ava mu ddwaaliro lya Mulago n’akulukutira mu mayumba gaabwe.

Bw’otuuka mu munisipaali y’e Kawempe,  ebinnya n’emidumu gya kazambi ebitali bisaanikireko bye bikwaniriza. Abatuuze balumiriza nti, kazambi ono ava mu ddwaaliro lya Gavumenti ery’e Mulago - Kawempe.

 meeya serunjogi ngannyonnyola ku mbeera ya kazambi weddwaaliro lye awempe Mmeeya Sserunjogi ng'annyonnyola ku mbeera ya kazambi w'eddwaaliro ly'e Kawempe

 

Embeera eno yeeraliikiriza abatuuze n’abamu ne batuuka okusengukira mu bitundu ebirala olwa kazambi okubawunyirira n’okukulukutira mu mayumba  gaabwe.

Bagamba nti, baludde nga beemulugunya eri abatwala eddwaaliro lino kyokka tewali kikoleddwa, baasinzidde wano ne bawanjagira aba minisitule y’ebyobulamu okuyingira mu nsonga yaabwe olw’okutya nti bayinza okufuna endwadde eziva ku bucaafu.

Bongerako nti, kazambi akulukutira mu bitundu okuli: Nabukalu, Jambula, Corner ne Bwaise nga byonna bitundu bya nzigotta omubeera abantu abangi kyokka nga tebalina busobozi bwa kwejjanjabisa.

 atuuze nga balaga awali ekinnya kya kazambi akulukutira mu mayumba gaabwe ABatuuze nga balaga awali ekinnya kya kazambi akulukutira mu mayumba gaabwe

 

Patrick Bogere 38, omusumba w’e kkanisa ya Bible Gospel Church mu Zooni ya Nabukalu yategeezezza nti, omwala gwa kazambi guyita mu luggya lw’ekkanisa yaabwe. Buli enkuba lw’etonnya omwala gubimba amazzi ga kazambi ne gayingira mu kkanisa nga mweraliikirizvu n’olw’ekinnya ekya ffuuti 20 ky’asimye kazambi ono okukulukutiramu kuba abaana abajja okusaba n’abantu b’omu kitundu bayinza okugwaamu.

Tugenda kukuba eddwaaliro mu mbuga - Meeya Sserunjogi

Emmanuel Sserunjogi, meeya w’e Kawempe ategeezezza nti buno buvunaanyizibwa bw’abakulira eddwaaliro lino okukola ku nsonga ya kazambi. “Tutuukiridde ab’eddwaaliro enfunda nnyingi wabula tewali kikoleddwa, banjuliza bungi bw’abalwadde, ndi wamu n’abatuuze era tugenda kukuba ab’eddwaaliro lino mu mbuga z’amateeka.

 baana nga bazannyira okumpi nomwala omukulukutira kazambi weddwaaliro Abaana nga bazannyira okumpi n'omwala omukulukutira kazambi w'eddwaaliro

 

Omujjuzo gususse – Abakulira eddwaaliro

Abatwala eddwaaliro lino bagambye nti, bakola ekisoboka okulaba ng’ekinnya kya kazambi bakigogola buli kiseera wabula  olw’omujjuzo gw’abantu abakozesa ekifo kino, olumu beesanga balemereddwa.

Bagumizza abatuuze nti, bali mu nteekateeka okukolagana n’ekitongole kya National Water and Sewarage Corporation okulaba ng’ekizibu kino kikolwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako