TOP

Ssefuliya mw'ofumba lwefuuka ey'obulabe eri obulamu bwo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Sseffuliya n'ebbinika by'ofumbamu lwe bikuzaalira akabasa

Drhuzairuwebuse 703x422

Dr. Huzairu Ntambi annyonnyola ku bika by'esseffuliya ze tukozesa n'obulabe obuzirimu

Bya Hafswa Nankanja

Endwadde ezisinga ziva ku nneeyisa yaffe naddala ku bintu bye tukozesa mu bulamu obwabulijjo. Abakyala be basinga okugula ebintu ebikozesebwa awaka naddala eby’effumbiro nga n’abalala bazikozesa mu birabo bya mmere kuba ye bizinensi gye badduknya. Mu bye bagula mwe muli n'ebintu ebikozesebwa mu ffumbiro ng'entamu zi magezigabaganda ezaakazibwako erya 'dongolo', ebigiiko ebisena enva, ebbinika, obwambe n'ebirala nga byonna bikolebwa mu byuma bye basaanuusiza mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga.

Bino babyettanira olw’obuwangaazi bwabyo ekikekkereza. 

 sseffuliya ekika kino zibeerako akabubi akabikka lead natagenda mu byofumba Esseffuliya ekika kino zibeerako akabubi akabikka lead n'atagenda mu by'ofumba

 

Ebintu ekika kino tebyettaniddwa bakyala bokka wabula n'amasomero agasinga bye gakozesa mu kufumba emmere y'abayizi n'ebigiiko era abasinga bye bakozesa mu kusena enva. Ebyuma bino mulimu ebizitowa n'ebyo ebiwewuka kyokka nga byonna bikoleddwa mu alumiiniyamu asaanuusibwa.

Wabula, nga tonnaba kwagala kufissa ssente, sooka omanye nti z’oyagala okufissa ate zandiggweera mu ddwaaliro olw'obulabe bw'oyolekedde mu kukozesa ebintu bino ekiseera ekiwanvu.

Dr. Huzairu Ntambi, owa Pearl Medical Center e Kansanga annyonnyola ku nsonga eno: 

Omuntu asaanye okumanya nti, waliwo obutwa obw'enjawulo obuyingira mu mibiri gy'abantu nga buva ku byuma ebikolebwamu ebintu ng'ebigiiko, esseffuliya n'ebirala ebikozesebwa mu kuteekateeka emmere.

Ebyuma bino bibeera n'ekirungo kya ‘lead’ eky'obulabe eri obulamu bw'omuntu. Buli sseffuliya oba ebbinika gy'okuuta ne sitiiru waya n'emasaamasa mu ddakiika omanya nti ya bulabe kubanga obeera ogiggyeeko akabubi akaagiteekebwako okukugira ekirungo kya ‘lead’ okugenda mu byokulya. Noolwekyo wettanire essefuliya ezikaluubiriza okukuuta ne zimasaamasa kuba ziba zaakolebwa mu bipimo ebyenkanankana ebitaganya kirungo kya ‘lead’ kugenda mu byakulya.

 bbinika ngeno ekoleddwa mu byuma ebiyingiza ekirungo kya lead mu byofumbiramu ya bulabe Ebbinika ng'eno ekoleddwa mu byuma ebiyingiza ekirungo kya lead mu by'ofumbiramu ya bulabe

 

 

Obuzibu bw'ofuna mu kukozesa ebintu bino

1. Waliwo esseffuliya gy'okuuta kyokka nga buli lw'ogikuuta egenda eggweerera, endala bw'ogifumbiramu ennyo entobo egenda ekola ekibuto so ng'ate ezimu zaabika bw'abisi. Era bw'ogigula n'omala akasera ng'owummuzza okugifumbiramu ekola obuntu obwefaanaanyiriza obutulututtu obweru munda. Zino zonna za bulabe eri obulamu bwo.

2. Osaabulula ebirungo eby'omugaso ng'eminnyo bye wandifunye mu mmere gy'ofumbira mu sseffuliya zino.

3. Zivaamu obutwa obukosa ensigo, omutima, n’okukendeeza endowooza y'omuntu.

4. Ekirungo kya ‘lead’ ekibeera mu byuma bino kitta obusimu bw'omubiri ekiyinza okuvaako omuntu okusannyalala.

5. Mu baana abato bw'osussa okumufumbira ebyokulya oba okunywa mu bintu bino bivaako okukula ng'obwongo tebukuze. ‘Lead’ alimu akendeeza entegeera y'omwana.

 muvubuka ngatwala sseffuluya gye bakoledde mu isenyi okugitunda Omuvubuka ng'atwala sseffuluya gye bakoledde mu Kisenyi okugitunda

 

Nkozese bintu ki?

  1.  Waliwo esseffuliya ezitundibwa mu maduuka amanene ez'omubiri omugumu kyokka nga zino zaabikkibwako akabubi akaziyiza ekirungo kya ‘lead’ okuyingira mu byokulya.
  2.  Waliwo n'esseffuliya oba ebintu ebitatalagga.
  3.  Ebikopo bya ggama nabyo birungi okusinga ku birala kubanga byateekebwako akabubi ka copper akayamba ekirungo kya lead obutagenda mu byakulya byo. Kyokka ggama eno buli lw'eggyako olwatika oba okubongoka, oteekeddwa okukomya okugikozesa kubanga awo awabongose wabeera wafuuse wa bulabe eri obulamu bwo olw'ensonga nti watandika okutalagga.

 

Yudaya Nakitto ow’e Kawempe agamba nti, ayagala okukekkereza era afumbidde mu ntamu ekika kya dongolo ebbanga eriwera naye tazifunangamu buzibu bwonna. Ekizimwagaza mpangaazi era ngumu ate ogifumbiramu emmere eya buli kika nga n'akawunga mw'okatwalidde kyokka n'esigala nga tekyuseeko.

Grace Nannono ow’e Nabweru – Katooke agamba nti, esseffuliya za dongolo azaagalako kukuuma bbugumu ate za ssente ntono okusinziira ku bbanga ly'omala ng'ozikozesa n'omulimu gwe zikola. Bw'ofumba emmere eyeetaaga okukoomera, bw'oba ne dongolo tekikwetaagisa kubeera ng'oyongeramu muliro buli kiseera. Wabula okozesa lusennyente oba vvu byokka emmere n'ogisaanikira mu ntamu eno. Obudde bw'onna w'ogyetaagira ebeera ekyabuguma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutu 220x290

Muwala wa munnamagye Kyaligonza...

PAULINE Ntegeka abadde abeera mu Bungereza, ku Lwokutaana yabadde agenda mu kinaabiro n’aseerera n’agwa n’akubawo...

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa