TOP

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe bwe bulanga ekikutawaanya

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 703x422

Omuwala ng'alumizibwa omutwe ogw'omu maaso

Bya Prossy Nababinge

Okulumwa omutwe kuyinza okukufuukira obulwadde obw’amaanyi okusinga abantu abamu bwe balowooza wadde nga kano kabonero akakubbirako ku buzibu bw’oba nabwo ku mubiri.

 Dr. Paul Mawaali okuva ku Herona Hospital Limited alaga bw’osobola okumanya ekivaako ekika ky’omutwe ogukuluma ne bwe weeyamba nga tonnatuuka mu ddwaaliro.

1. Okulumwa omutwe olwa puleesa oba situleesi: Wano obulumi bujja bwe busiriikirira naye ng’obuwulirira ku ludda lw’omutwe. Buno oluusi oyinza okubuwulirira ku nkoona y’omutwe, amaaso okukuluma n’okulumwa mu binywa by’omu bibegabega oba mu bulago.

2. Omutwe omuteezi: Omutwe ogw’ekika kino gubeera gwa maanyi era ng’obeera owulira ng’aliko ekikukoona munda mu mutwe. Guno ebiseera ebisinga bwe gutandika okuluma omuntu kiyinza okutwala wakati w’essaawa 4 n’ennaku 3 nga tegunnata.

Gusimba ku ludda lumu olw’omutwe era omuntu ayinza okuggwebwako ekyagala okulya, okusesema, okulumwa olubuto, omusujja, okufuna kammunguluze nga n’emirundi egimu, oyinza okulemererwa okulaba obulungi era ng’abalwadde b’ekika ky’omutwe tebeetaaga bireekaana. 

 mutwe oluusi gulumisa ensingo Omutwe oluusi gulumisa ensingo

 

Okukkakkanya obulumi buno, oyinza okwetaaga okusooka okuwummulamu era ng’ekyo bwe kigaana, olwo lw’olaba omusawo.

3. Omutwe ogulumira mu maaso: Ebiseera ebisinga oyinza okuwulira ng’aliko ekikufumita okwetooloola eriiso. Obulumi bubeera bungi era eriiso limyuuka n’oluusi okukulukuta amaziga nga kw’otadde n’okutuuyana.

Guno osobola okugutangira nga weewala okufuuweeta sigala, kalifuuwa ow’amaanyi ne langi ez’amaanyi naddala gye basiiga ku nju.

4. Okulumwa omutwe olw’ekiwanga: Obulumi bw’omutwe guno oluusi bujjira wamu n’obulumi mu kyenyi, mu kalindaminyira ne mu mba. Obulumi buno buleeta eminyira egitakalira, okuwaawaala mu matu oluusi n’omusujja.

Omutwe ogw’ekika kino guva ku ndwadde za kiwanga era oluusi eminyira gy’ofulumya gibeera gya kyenvu oba nga girimu langi ya kiragalalagala.

 mukyala ngafa obulumi bwomutwe Omukyala ng'afa obulumi bw'omutwe

 

5. Okulumwa omutwe oluvannyuma lw’okukola dduyiro: Buli lw’okola dduyiro ow’ekika kyonna, ebinywa by’omu mutwe ne mu bulago bibeera n’obwetaavu bw’omusaayi era emisuwa gyesika okusobola okutuusa omusaayi mu bitundu ebyo ekivaako obulumi ku buli ludda lw’omutwe gwo.

6. Okulumwa omutwe olw’enkyukakyuka mu busimu mu mubiri gwo: Kino kiyinza okubeerawo mu kiseera ng’omukyala ali mu nsonga, ng’ali lubuto oba ng’atuuse mu kiseera ky’okuma okugenda mu nsonga.

7. Obulumi bw’omutwe oguva ku kukozesa ennyo ekika ky’eddagala ekimu  emirundi egisukka mu esatu olunaku oba okusukka ennaku 10 mu mwezi. Omutwe ogw’ekika kino, gujja bwe gugenda, eddagala bwe liggwa mu mubiri ng’olwo guddamu.

Dr. Mawali ayongerako nti, waliwo n’ebintu ebitali bimu ebituukawo mu bulamu bw’omuntu ebiyinza okumuviirako okulumwa omutwe oluvannyuma lw’akabanga okugeza bw’oba wafuna ku kabenje.

Akkatiriza nti, buli lw’ofuna obulumi bw’omutwe, kirungi n’owummula, okunywa amazzi oba okweyambisa ebiwero ebinnyogoga nga tonnalaba musawo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...