TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Abasawo bawakanya ekya gavumenti okuwola musigansimbi obutitimbe bw’ensimbi okuzimba eddwaaliro ly’e Lubowa

Abasawo bawakanya ekya gavumenti okuwola musigansimbi obutitimbe bw’ensimbi okuzimba eddwaaliro ly’e Lubowa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2019

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Basawowebuse 703x422

Abakulira abasawo nga baliko bye bannyonnyola ku ssente ez'okuwolebwa musigansimbi okuzimba eddwaaliro e Lubowa

Bya Jaliat Namuwaya

Abasawo abeegattira mu kibiina kya Uganda Medical Association bawakanya ekiteeso ekyayisiddwa Palamenti gye buvuddeko okuwola musigansimbi obutitimbe bw’ensimbi okuzimba eddwaaliro e Lubowa. 

Bano baasazeewo okuwandiikira omukulembeze w’eggwanga ne sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga nga basaba wateekebwewo akakiiko ak’enjawulo okunoonyereza ku nsonga eno naddala ku bukadde 380 obwa doola obugenda okuweebwa musigansimbi bo ze bagamba nti mpitirivu bw’ogeraageranya n’omulimu ogugenda okukolebwa.

Okwogera bino baabadde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku ddwaaliro e Mulago ku Mmande nga luno lwakubiriziddwa pulezidenti waabwe, Dr. Ekwaro Obuku.

Dr. Obuku abadde omwennyamivu agamba nti, kyewuunyisa okulaba nti Palamenti yagenda mu maaso n’okuyisa ekiteeso nga kino nga temaze wadde n’okwebuuza ku bo ng’abasawo oba ddala eddwaaliro ly’e Lubowa lyetaagisa era ddala bwe liba lyetaagisa liyinza kumalawo ssente mmeka?

Yayongeddeko nti, si kya bwenkannya okuddira ensimbi ezo zonna okuziteeka ku kuzimba eddwaaliro eppya so nga eddwaaliro ekkulu ery’e Mulago likyetaaga obukadde bwa doola 6 bwokka okuzimbibwa okuggwa.

Eddwaaliro ly’e Mulago ssinga libeera lizimbiddwa ne liggwa bulungi lijja kusobola okujjanjaba buli Munnayuganda ku bwereere oba ku bbeeyi ensaamusaamu ekintu kye bagamba ekitali ku ddwaaliro ly’e Lubowa kubanga lyo lijja kuba lisobola kuwa bujjanjabi abo bokka abeesobola mu nsonga y’ensimbi.

ddwaaliro lya ulago nga terinnaddamu kuzimbibwaEddwaaliro lya Mulago nga terinnaddamu kuzimbibwa

 

Dr. Sulaiman Lubega, omusawo omukugu mu kujjanjaba endwadde z’omutima mu baana annyonnyode nti nga Uganda Heart Institute beetaaga obuwumbi 7 okumaliriza ekifo awakuumirwa abalwadde b’emitima abamaze okulongoosebwa ekya Intensive Care Unit (ICU) ku ddwaaliro ekkulu e Mulago Era beetaaga n’obukadde bwa doola 70 okuzimba eddwaaliro ly’omutima eryetengeredde ekiteeso ky’agambye nti kyayisibwa emyaka 7 egiyise wabula nga ne gyebuli eno Gavumenti ekyalemereddwa okubawa ensimbi zino okutandika okuzimba.

Dr. Lubega yawabude nti, nga Gavumenti tennalowooza ku kyakuwola musigansimbi yandisoose kulowooza ku malwaliro amayitirivu agali mu ggwanga agakyalina obwetaavu obw’amaanyi obwebikozesebwa okusobola okutuusa ku Munnayuganda obujjanjabi. Ekirala, mu bifo nga Lubowa temwetaagamu ddwaaliro wabula ligwanidde liteekebwe mu bifo ebyesuddeko Kampala ne Wakiso nga Arua kubanga nayo waliyo obwetaavu bwa maanyi.

Dr. Gideon Rukundo, akulira abasawo abakugu mu kulongoosa agamba nti Uganda erina abakugu abamala mu kulongoosa n’okujjanjaba buli ndwadde era yeewuunya abakugu ba kika ki abo abagenda okubeera mu ddwaaliro ly’e Lubowa.

Agattako nti, mu 2017 Gavumenti yateeka ssente mu kubangula abasawo abakugu mu kulongoosa endwadde ez’enjawulo naddala ezo ezaaleeteranga Bannayuganda okugenda mu mawanga g’Abazungu okufuna obujjanjabi. Abasawo 42 be baabangulwa era baamaliriza emisomo mu September wa 2018, kyokka okuva olwo bakyateereddwa ku katebe olw’ensonga nti eddwaaliro ly’e Mulago mwe balina okujjanjabira abalwadde likyalemeddwa okuzimbibwa okuggwa.

Bano baafuna obukugu mu kulongoosa obwongo, enkizi, ekibumba n’ensigo, emisuwa n’ebirala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Goba 220x290

Emisota gigobye Pulezidenti wa...

EBYEWUUNYISA tebiggwa mu nsi. Emisota egyagobye Pulezidenti wa Liberia, George Weah mu ofiisi nakati gikyatabudde...

Nyiga 220x290

Bajjo anyiga biwundu nga bw’awera...

Ekivvulu kya ‘Kyalenga Extra’ bwe kyasaziddwaamu n’akanyoolagano akaabaddewo nga Bobi Wine n’abategesi bakwatibwa,...

Kasa 220x290

Embeera ya Rema ne Kenzo erekedde...

Abaalabye Rema Namakula ng’agabula bba, manya Eddy Kenzo obuugi ng’ali wamu ne muwala waabwe Amaal Musuza ne mikwano...

Untitled3 220x290

Gwe nnali njagala namusanga na...

Nze Sadam Ssempala. Ndi mutuuze w’e Miseebe mu ggombolola y’e Bulera mu disitulikiti y’e Mityana.

Noonya 220x290

Nnoonya mukazi alina empisa

Nneetaaga omukyala asobola okunyambako okutumbula ekitone kyange ng’alina empisa.