TOP

Gavumenti eweze emmere eteeberezebwa okubeeramu obutwa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Gavumenti eweze emmere ey'obutwa eyasse abantu e Karamoja n'okuleka abalala nga bali bubi.

Vlcsnap2019031917h06m50s182webuse 703x422

Minisita Acheng ku Media Centre

Bya Jaliat Namuwaya

GAVUMENTI eweze bunnambiro emmere enkolerere emanyiddwa nga Super Cerial ebadde eweebwa abakyala b’embuto, abayonsa n’abaana okubayambako obutakonziba mu nkambi z’ababundabunda.

Kino kiddiridde ebiyiting’ana nti emmere eno yandibaamu obutwa oluvannyuma lw’abantu 3 okufa nga bagiriddeko gye buvuddeko nga kw’otadde n’abalala abasoba mu 262 mu bitundu bya Amudat ne Napak e Karamoja okukosebwa.

Mu lunkug’aanna lw’abaamawulire olwatuuziddwa ku Media Centre mu Kampala, minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Acheng yagambye nti baasazeewo bawere emmere eno nga bwe banoonyereza.

Minisita w’e Karamoja, John Byabagambe agamba nti baasazeewo okukung’aanya emmere eno mu bantu abaali baagifuna edda mu disitulikiti ezirimu enjala mu Karamoja ne mu nkambi z’ababundabunda okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.

 bakaramoja bakosebwa enjala Abakaramoja bakosebwa enjala

 

Akulira ekitongole kya World Food Program mu Uganda, El khidir Daloum annyonnyodde nti, nabo tebamanyi ngeri mmere bwe yayingiramu butwa kuba balina abakugu abalondoola emmere eno okuva mu kugikola, okugitereka okutuuka lwe bagigabira abantu.

Akakasizza nti, bamaze emyaka egisoba mu 50 nga bakola omulimu ogw’okugaba emmere mu bantu abali mu bwetaavu era nga tebayinza kubawa mmere erimu butwa.

Kati basazeewo okwegatta n’ebitongole ebinoonyereza okulaba nga bazuulira ddala ekyasse abantu bano.

Emmere eno eriko akabuuza ekolebwa mu ggwanga lya Butuluuki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...