TOP

Ab’e Mukono bawonye obulwadde obuva ku kasasiro

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2019

Endwadde eziva ku bujama naddala ku kasasiro bugobeddwa mu Mukono bwe bafunye ekimotoka ekiyoola kasasiro

Emotokaempyaeyaguliddwaegendaokusombakasasiromumukonowebuse 703x422

Ekimotoka ekiyoola kasasiro ekyaweereddwa ab'e Mukono

Bya Joanita Nakatte

Kasasiro mu kibuga Mukono yandifuuka olugero oluvannyuma lwa minisitule y’ebyemirimu ng’eri wamu n’ekitebe kya munisipaali eno okugula emmotoka empya egenda okutalaaga mu kibuga n’ebyalo ebiriraanyewo ng’emusomba okumutwala e Katikkolo gy’agenda okwongerwako omutindo.

Emmotoka eno eyawemmense obukadde 530 yaweereddwa ekitebe kya munisipaali y’e Mukono wiiki ewedde okuva mu minisitule y’eby’emirimu, nga yakwasiddwa Meeya w’ekibuga kino, George Fred Kagimu mu butongole, okuva ew’omubaka akiikirira obuvanjuba bwa disitulikiti y’e Mukono Ronald Kibuule eyabadde omugenyi omukulu.

Meeya Kagimu yagambye nti, okunoonyereza kwabwe nga munisipaali nga bakolaganira wamu n’abavunaanyizibwa ku by’obulamu mu munisipaali eno, baakizuula nti kasasiro y’abadde asinga okuvaako endwadde ez’enjawulo ezitawaanya abantu naddala abaana olw’obutabeera na mmotoka ziyoola kasasiro ezimala nga n’ezibaddewo nkadde.

 inisita ibuule mu suuti ngakwasa abe ukono ekimotoka kya kasasiro Minisita Kibuule (mu suuti) ng'akwasa ab'e Mukono ekimotoka kya kasasiro

 

Yagambye nti, endwadde okuli ekiddukano omusujja n’endwadde endala, ziva ku bucaafu obukulukutira mu myala oluvannyuma lw’enkuba okutonnya, olwo ne busibira mu nzizi abantu gye bakima amazzi ge bakozesa.

“Nga tweyambisa emmotoka ey’omulembe gye tufunye, tugenda kulwanyisa obuzibu bw’endwadde obubadde butigomya Bannamukono, wabula nammwe mwekolemu omulimu nga mwewala okunywa amazzi agatali mafumbe ku lw’obulungi bw’abaana bammwe n’obutamansa kasasiro buli we musanze,” Kagimu bwe yagambye.

Yayongeddeko nga bwe bagenda okwongera omutindo ku kasasiro akuhhaanyizibwa nga wa kukolebwamu ebigimusa ebinaawebwanga  abalimi ku nsimbi ensaamusaamu olwo ensimbi ezinaamuvaamu, zeeyambisibwe mu kumaliriza emirimu gya munisipaali.

Minisita Ronald Kibuule yeeyamye okukola ekisoboka okulaba ng’omuwendo gw’abaana mu Mukono ababadde batawaanyizibwa endwadde okuva ku mazzi amacaafu gukendeera nga waakubafunira amazzi amayonjo okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’ amazzi ekya National Water and Sewerage Corporation.

 eeya rd agimu ngeyogera eri annamukono ku kimotoka kya kasasiro ekyabaweereddwa Meeya Fred Kagimu ng'eyogera eri Bannamukono ku kimotoka kya kasasiro ekyabaweereddwa

 

“Nsazeewo mbawe taapu 100 mu bitundu naddala ebyesudde ekibuga awali abantu abasinga okuba n’obwetaavu bw’amazzi, nammwe mubeere n’obuvunaanyizibwa okulwanyisa omuwendo gw’abaana baffe abafa endwadde ezeekuusa ku mazzi amacaafu,” Kibuule bwe yagambye.

Yalangiridde olutalo ku bantu abayitirizza okusaanyawo obutonde bw’ensi okuli abazimba mu ntobazzi n’abatema emiti, n’ategeeza nga bwe wagenda okuteekebwawo kkooti ewoza emisango gino embagirawo nga n’ebibonerezo ebinaabaweebwa bya kukola ng’ekyokulabirako eri abalala.

Ssentebe wa disitulikiti eno awanjagidde abavubuka okukozesa emikisa gy’emirimu egiri mu Mukono okuli enteekateeka y’okuddaabiriza oluguudo lwa Kampala - Jinja Express Highway n’okufuna emirimu e Katikkolo awagenda okusunsulirwa kasasiro okumufunamu ebigimusa n’emirimu emirala mwe banaasobola okwefunira ku ssente ez’okwebeezaawo, okusinga okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...