TOP

Mukole dduyiro okulwanyisa sukaali - Bakugu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2019

Abantu bakubiriziddwa okulya obulungi n'okukola dduyiro balwanyise obulwadde bwa sukaali obweyongera buli kiseera.

Sukaali4webuse 703x422

Polof. Guwatudde (owookubiri ku ddyo) n'abasawo abalala bwe baabadde bagenda okwanjula ebyavudde mu kunoonyereza ku bulwadde bwa sukaali

Bya Deborah Nanfuka

Obulwadde bwa sukaali bumu ku businga okutawaanya Bannayuganda ennaku zino era bangi bavudde ku byokulya bingi olw’obuzibu buno. 

Abakugu bakubiriza abalwadde sukaali okulya ebibala, enva endiirwa, okwewala emmere n’ebyokunywa ebikolerere n’ebirungibwaamu sukaali nga soda ne keeki n'okwewala emmere erimu amasavu.

Omulwadde wa sukaali ateekeddwa okukola dduyiro n'okwewala okutuula ekisukkiridde ssaako  obuteebaka kisusse kuba kinafuya omubiri.

Ate balina okwewala okunywa sigala n'omwenge ssaako ebitamiiza ebirala.

Polof. David Guwatudde okuva mu Makerere University School of Public Health annyonnyola nti, sukaali akukwata nga gulukosi awedde mu musaayi oba nga mungi Gulukosi ono y’asinga okuleeta amaanyi mu mubiri ng'ava mu mmere gye tulya.

 olof avid uwatudde Polof. David Guwatudde

 

Obubonero obusookerwako okulaga sukaali mulimu: Okulumwa enkalamata, enjala buli kiseera, okufuuyisa buli kiseera n’ebirala.

Agamba nti, buli muntu ali mu bulabe ssinga takola dduyiro, okumala galya by’osanze naddala ebisiikesiike, okunywa omwenge ogususse n'okunywa sigala nga bino bireeta sukaali obutenkana mu mubiri ne kivaako okulwala.

Sukaali wa bika bibiri (2) okuli: akwata abaana abazaalibwa ng'akalulwe tekakola bulungi n’abamufuna mu bukulu olw'endya embi.

Dr. William Mayega, naye owa Mukerere University School of Public Health annyonnyola nti, abantu bamala kubeera bubi ne balyoka bagenda mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi ng'obulwadde bumaze okukula.

Ettendekero ly'abasawo erya Makerere University School of public health (MAKSPH) baakola okunoonyereza mu 2014 ku bulwadde bwa sukaali mu Iganga ne Mayuge ne bakizuula ng’abantu bangi abalwadde okusinga ku muwendo gwe babadde balina. Baazudde ng’obulwadde buno bukwata abantu 7 ku 100 ate mu ggwanga lyonna sukaali akwata 1.4 ku 100. 

Bino baabyanjudde nga balaga okunoonyereza kuno we kutuuse ku ‘SMART2D’ ku Golf Course hotel mu Kampala.

Okunoonyereza era kwazudde nti, obulwadde bwa sukaali businga kwegiriisa mu bantu abasussizza emyaka 40.

Obuzibu obuliwo bagamba nti, abantu bwe balwala ate basooka kugenda mu bujjanjabi bw’ekinnansi nga balowooza babaloga ne batuuka mu ddwaaliro nga busajjuse.

Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ekya World Health Organisation (WHO) endwadde ezitakwata nga sukaali, puleesa, kookolo n’endwadde z’ekiwanga zisoomoozezza ensi era zitta abantu 80 ku 100.

Dr. Mayega agamba nti, okujjanjaba omulwadde wa sukaali kyetaagisa ssente eziri wakati w’akakadde kamu n’emitwalo 80 n’obukadde bubiri n’ekitundu buli mwaka ky’agamba nti abantu abasinga ssente zino tebazisobola.

Patrick Chemandwa, avunaanyizibwa ku ddwaaliro lya Namungalwe Health Centre III, mu disitulikiti y’e Iganga agamba nti baggyeemu abantu 80 abalina obulwadde bwa sukaali wabula nga mu kiseera kino eddwaaliro teririna ddagala limala.

Rukia Mutesi ow’e Iganga, yazudde mwaka oguwedde nti alina obulwadde bwa sukaali ng’abasawo abajja ku kyalo nga babakebera be baakizuula era n’atandikirawo okumira eddagala era agamba nti ali bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...