TOP

Meeya wa Mukono asabye abavuganya okuwagira enkulaakulana

By Musasi wa Bukedde

Added 9th April 2019

Bannamukono balabuddwa ku kukuuma obuyonjo okwegobako endwadde era abanaasangibwa nga tebatuukana na mutindo gwa buyonjo mu kibuga baakukangavvulwa.

Meeyawekibugamukonogeorgefredkagimungayeteekateekaokulongoosawebuse 703x422

Meeya Kagimu ng'ayambala enkampa okutandika okulongoosa ekibuga

Bya Joanita Nakatte

Ab’oludda oluvuganya Gavumenti baweereddwa amagezi okuwagira enteekateeka za gavumenti ezinaasobozesa okutwala Bannayuganda mu maaso so ssi kuwakanya buli ekireetebwa awatali kusooka kukyekenneenya.

Amagezi gano gaabaweereddwa Meeya wa munisipaali w’e Mukono, George Fred Kagimu mu kaweefube w’okuyonja ekibuga kino n’abakalaatira okubeera eky’okulabirako mu bukulembeze bwabwe kisobozese abalonzi okubalabamu omugaso babalonde mu bisanja ebiddako.

“Kibeera kikyamu okuwakanya entegeka za Gavumenti ezireeta enkulaakulana okuli okukubiriza abantu baffe okubeera abayonjo n’okubasomesa obulungi obukirimu, okwetaba mu pulojekiti z’okubawonya obwavu n’endala nnyingi ezitasosola mu bantu okusinziira ku ndowooza n’enzikiriza zaabwe ez’enjawulo mu by’obufuzi,” Kagimu bwe yagambye.

Yabadde akulembeddemu bakansala ku kakiiko ka munisipaali eno era yagambye nti olukiiko luno lwasalawo okwetaba mu bulungibwansi buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi ng’enkola ey’okutegeka ekibuga kino kisobole okusuumuusibwa okutuuka ku ddaala ly’ekibuga ekikulu ekya Uganda.

 

myuka eeya ajji ajoba ngayita abantu okujjaokwenyigira mu kulongoosaAmyuka Meeya, Hajji Kajoba ng'ayita abantu okujjaokwenyigira mu kulongoosa.

 

Yagambye nti, ekibuga kino kikulaakulanira ku misinde, ng’okukizza mu ntalo z’ebyobufuzi mu kifo ky’okukola ebinaakitwala mu maaso kijja kuva ku mulamwa ate nabo ng’abakulembeze balemererwe okutuukiriza bye baasuubiza abaabateeka mu buyinza.

Omumyuka wa Meeya, Hajji Jamada Kajoba, yayanjudde enteekateeka ey’okutambula nju ku nju nga balondoola omutindo gw’obuyonjo mu maka mwe bagenda okukangavvulira buli maka aganaasangibwa nga tegalina kaabuyonjo, obutandaalo n’amafumbiro agatuukanye n’omutindo.

“Tutandise kaweefube w’okusomesa abantu nti tebasaanye kulinda bakulembeze kussaawo mutindo gwa buyonjo ogwetaagisa mu maka gaabwe wamu n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obulala ng’okutwala abaana baabwe mu masomero, okubaliisa obulungi n’okubatangira emize.
Omukolo gwa bulungibwansi guno gwetabiddwaako abaana b’amasomero, abakozi ba munisipaali, kkanso y’e Mukono n’ebibiina eby’obwannakyewa okwabadde Goshens ne Municipal Council Alliance for Better and Smart Cities.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...