TOP

Endwadde 5 z'osobola okugema omwana ng'akyali mu lubuto

By Vivien Nakitende

Added 17th April 2019

Endwadde ezisinga zisobola okugemebwa mu baana nga tebannafunibwa wadde okuzaalibwa

Ngakeberapuleesawebuse 703x422

Abasawo nga bakebera puleesa y'omukyala ow'olubuto ng'ekimu ku biyamba okuziyiza omwana munda okufuna obuzibu

Bya Vivien Nakitende 

Abasawo bagamba nti, omwana okubeera omulamu obulungi oluusi kiva ku ngeri omuzadde gy’amulabiriramu okuva mu lubuto, kubanga endwadde ezisinga okukwata abaana, naddala abali wansi w’emyaka etaano ezisinga ziva ku bulagajjavu kuba nnyingi zisobola okuziyizibwa.

Abazadde basaanye okweteekerateekera okuzaala amangu ddala nga bafunye ekirowoozo ky’okuzaala. Okulya obulungi n’okwerabirira obulungi ng’oli lubuto, emu ku ngeri y’okuziyiza endwadde ezimu.

musawo ngakebera olubuto lwomukyala okulaba nga bulikimu kiri bulungi ku maama nomwana ali munda Omusawo ng'akebera olubuto lw'omukyala okulaba nga bulikimu kiri bulungi ku maama n'omwana ali munda

 

Dr. Vincent Kayima, omusawo w’abaana mu ddwaaliro e Mengo agamba nti, eddagala lya ‘Folic Acid’ eriweebwa abakyala nga bali mbuto, liyamba mu kugema endwadde mu bakyala ab’embuto, okugema abaana baabwe okukwatibwa endwadde ezimu nga bakyali munda, naddala abaana okuzaalibwa nga baliko obulemu ku mbiri gyabwe.

Kirungi omukyala okutandika okufuna eddagala lino amangu ddala ng’alowoozezza ku kuzaala, era abakyala basaana okugenda mu ddwaaliro amangu ddala nga baakazuula nti bafunye embuto.

 bakyala bembuto nga basomesebwa ku ddwaaliro e itebi kulunaku lwokunywa eddagala Abakyala b'embuto nga basomesebwa ku ddwaaliro e Kitebi kulunaku lw'okunywa eddagala.

 

Endwadde z’osobola okugema mu mwana ng’okyali lubuto

1. Yinfekisoni: Buno bubeera buwuka obw’ebika eby’enjawulo obwa vayiraasi, fangaasi, bakitiriya n’obulala bungi. Omwana ayinza okusesema, okukolola, okuddukana, okuzimba emimiro, omusujja, omwana okubeera n’ebbugumu eringi, ebinyinyi mu maaso n’ebirala nga bino byonna bw’olaba omusawo ng’okyali lubuto osobola okubigema mu mwana wo.

2. Obulwadde bw’okugongobala n’okuzimba omutwe bumu ku buyinza okugemebwa ng’omwana tannazaalibwa.

3. Endwadde z’obwongo: Abaana abamu bafuna ekizibu ky’endwadde z’obwongo, bangi ku bano ne bakonziba naye nga kino kisobola okuziyizibwa ng’omwana akyali mu lubuto n’eddagala lya Folic Acid.

 bakyala abembuto nga balinze okukeberebwa ku ddwaaliro e itebi Abakyala ab'embuto nga balinze okukeberebwa ku ddwaaliro e Kitebi

 

4. Omusujja gw’ensiri: Guno gutawaanya abaana kyokka nga ssinga bamaama batandika okumira eddagala nga bukyali era ne bazaalira mu malwaliro, obulwadde buno busobola okugemebwa, abaserikale b’omubiri gw’omwana ne bafuna amaanyi n’okweyongera ne basobola okulwanyisa obuwuka obuleeta omusujja ssinga bubeera bubakutte.
5. Akawuka ka siriimu: Maama bw’abeera n’akawuka ka siriimu n’afuna olubuto asobola okuzaala omwana omulamu ssinga yeeyunira eddwaaliro nga bukyali n’atandisibwa ku ddagala eriyamba okuziyiza akawuka okukwata omwana ng’ali mu lubuto, ng’azaalibwa ne bw’aba akyayonka.

 musawo ngatonnyeza ebikwata ku mukyala owolubuto azze mu ddwaaliro Omusawo ng'atonnyeza ebikwata ku mukyala ow'olubuto azze mu ddwaaliro

 

6. Siikoseero: Buno bulwadde butambulira mu musaayi mu lulyo nga ssinga abazadde bombibabeera n’akawuka akabuleeta bazaala abaana nga balwadde ba siikoseero. Buno obugema ssinga mwekebeza nga temunnasalawo kuzaala ne muzuula ekituufu olwo ne mumanya eky’okukola.
Noolwekyo abakyala balina okugenda mu malwaliro nga bali mbuto ne bayambibwa okugemebwa endwadde eziyinza okutawaanya abaana nga bazaaliddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...