TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Ebitongole by'ebyobulamu byagala wabeewo ennoongoosereza mu mateeka g'ebyobulamu

Ebitongole by'ebyobulamu byagala wabeewo ennoongoosereza mu mateeka g'ebyobulamu

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

Ebibiina byagala amateeka agakwata ku byobulamu amakadde gakyusibwe naddala erikwata ku ndwadde z'ekikaba.

Img20190410wa0004vvvwebuse 703x422

Ab'ebitongole by'ebyobulamu nga boogera eri abaamawulire ku ky'okukyusa amateeka amakadde

Bya Jaliat Namuwaya

Ekibiina ky'obwannakyewa ekirwanirira eddembe ly'ebyobulamu ekya CEHURD kitutte okwemulugunya mu kkooti etaputa Ssemateeka nga kyagala kkooti ewalirize Ssaabawolereza wa gavumenti n'akakiiko akavunaanyizibwa ku mateeka aka Law Reform Commission okukola ennoongoosereza ku gamu ku mateeka agakwatagana n’ebyobulamu ge bagamba nti makadde era mu kiseera kino gatyoboola eddembe ly'abalwadde.

Etteeka kwe baasinze okwezinga lye lya Venereal Disease Act nga lino likwata ku bulwadde obw’ekikaba okugeza HIV /AIDS n'endwadde endala nnyingi.

 ba  nga bava mu lukungaana lwa annamawulire lwe baayogereddemu ku byokukyusa amateeka agakwata ku byobulamu amakadde Aba CEHURD nga bava mu lukung'aana lwa Bannamawulire lwe baayogereddemu ku by'okukyusa amateeka agakwata ku byobulamu amakadde

 

Dorothy Amuron, munnamateeka w'ekitongole kino agambye nti etteeka lino erya Venereal Disease Act kkadde nga lyayisibwa mu 1977 kyokka ng’ekisinga okuba eky'obulabe liwa omwagaanya omusawo okujjanjaba n'empaka omuntu yenna abeera azuuliddwa n’obulwadde bw’ekikaba era mu ngeri y’emu ggwe asangiddwa n'obulwadde buno oba oteekeddwa okunnyonnyola omusawo ani eyabukusiiga.

Bannamateeka bano bakkaatiriza nti, kuno kuba kutyoboola ddembe lya mulwadde era Ssaabawolereza wa gavumenti ateekeddwa okulaba nti etteeka lino likolebwamu ennoongoosereza oba liggyibwewo bunnambiro.

Bannyonnyodde nti, si buli asangibwa n'obulwadde bw'ekikaba nti aba yabuggya mu kwegadanga kubanga abamu bubakwatira ne ku kaabuyonjo enjama n’abaaana abazaalibwa n’obumu nga siriimu era ne balaga okutya etteeka lino ssinga liba teriggyiddwaawo lyanditiisa abantu okugenda mu malwaliro okwekebeza.

Amateeka amalala ge bagamba agalimu ebirumira kwe kuli erya  HIV Control Act n'erya Public Health Act.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...