TOP

Ennaku z’olina okuterekera ebyokulya mu firiigi obutafuuka butwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

Genderera ebyokulya by'ossa mu firiigi byandifuuka eby'obutwa ate n'ofunamu ndwadde

Ebyokulyaokulwamufiriigikiyinzaokubiviirakookwononekawebuse 703x422

Firiigi ejjudde ebyokulya

Bya Prossy Nababinge

Tekikwewuunyisa ng’ebyokulya bye wasuubira okulwawo okwonooneka mu fiirigi yo ate byonoonese mu nnaku entono ddala. Okwewala okufiirizibwa n’endwadde eziva ku byokulya bino okuzaala obuwuka, Dr. Paul Mawaali, owa Herona Hospital akulaze ebyokulya ebitali bimu n’ebbanga ly’olina okubikuumira mu firiigi yo.

Bbanga ki ly’olina okuterekera ebyokulya byo mu firiigi?

Ebyennyanja biterekemu olunaku lumu

Ebibala ennaku bbiri

Enva endiirwa wakati w’ennaku ssatu ne nnya

Ennyama wakati w’ennaku biiri n’e ssatu

 nnyama terina kusussa nnaku bbiri mu firiigi Ennyama terina kusussa nnaku ssatu mu firiigi

 

Sosegi ennaku ssatu

Saladi wakati w’ennaku bbiri ne ssatu.

Amata tegasussa nnaku nnya

Ebirala by’otalina kutereka mu firiigi

1. Butto akwata n’afa empooma.

2. Wootameroni gy’otonnasalamu

3. Ovakkedo atannayengera bw’omussaamu alwawo okwengera, wabula ayengedde kiyinza okumulwisaawo okwonooneka. Bw’oba omusazeeko mukamulireko enniimu olyoke omuteekemu.

4. Obutungulu ne katunguluccumu buwunyisa buli ekibeera mu firiigi.

5. Vinegar ne tomato soosi

6. Amenvu nago obunnyogovu bwa firiigi bugoonoona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...