TOP

Okusiiwa kw'amabeere lwe kusonga ku bubonero bwa kookolo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

Genderera obuleega bw'oyambala nga bujama okwewala okulwala kookolo

Itching1webuse 703x422

Omukyala ng'atakula ebbeere erimusiiwa

Bya Prossy Nababinge

Okusiiyibwa amabeera y’emu ku mbeera abakyala abasinga gye batayagala kulowoozaako olw’obulumi n’obuswavu bwe kiyinza okuleeta naddala nga gakusiiyidde mu bantu.

Dr. Fred Okuku okuva ku Cancer Institute e Mulago agamba nti, embeera eno yaabulijjo era okwefaananyirizaako n’ebitundu ebirala, ssinga osiiyibwa osobola okwetakula n’okkakkana.

Kyokka wadde kino tekisaanye kukweraliikiriza, bw’okikola entakera kayinza okubeera akabonero k’omubiri okukulabula ku buzibu bw’olina okukolako. Era ebimu ku biyinza okuvaako okusiiyibwa amabeere kuliko:

aliwo ennywanto lwesiiwa abamu ne baginyiga okukendeeza obusiiyi Waliwo ennywanto lw'esiiwa abamu ne baginyiga okukendeeza obusiiyi

 

1. Okwambala akalega akacaafu: Abantu bangi badding’ana obuleega okumala ennaku naddala obwa langi ezitalaga kko ng’enzirugavu so nga buli lunaku omuntu atuuyana ekireeta obuwuka okwekukuma mu kalega n’ekiddirira kukusiiwa nga bukuluma.

2. Eyinza okubeera alaje: Obuleega bukolebwa mu bika by’engoye eby’enjawulo era oluusi ekika ky’olugoye kiyinza okuboola olususu lwo ne kivaako okusiiyibwa.
3. Sabbuuni: Emirundi emirala kiyinza okubeera nga kiva ku sabbuuni gw’okozeza okwoza oba n’okukambala nga tekakaze bulungi.

4. Yinfekisoni: Endwadde z’olususu nga Eczema ezivaako olususu okukala ziyinza okukuviirako okusiiyibwa amabeere.

5. Okutuuyana: Abamu bwe batuuyana wansi w’amabeere nakyo kibaleetera okusiiyibwa olw’obuwuka okwalulirayo. Kikwetaagisa okukuuma ebitundu by’amabeere go nga bikalu.

6. Olususu okubeera olukalu oba okubeera nga lwereega.

 bamu banyweza amabeere olwobulumi Abamu banyweza amabeere olw'obulumi

 

Okusiiyibwa lwe kusonga ku kookolo

Dr. Okuku annyonnyola nti, waliwo omukisa okuba nti okusiiyibwa kuno kwandiba nga kwekuusa ku bulwadde bwa kookolo.

Agamba nti, okusiiyibwa kuno olina okukwekengera ssinga kubeera kusinga ku bitundu by’enywanto ng’obulwadde buno buyitibwa ‘paget disease’ nga bukwata mu misuwa gy’ebbeere okutuukira ddala ku nywanto nga kino emirundi egisinga kye kivaako kookolo.

Obumu ku bubonero bwa kookolo obulala kwe kubeera n’okubutuka ku bbeere, olususu lw’ebbeere okuyubuka wabula nga luli mu langi ya kipaapaali, okumyukirira, emisuwa okwereega ku lususu lw’ebbeere, ebbeere okukaluba n’endala ng’okukizuula amangu kiyinza okuyambira.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba