TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Essimu gy'oyita mukwano gwo asinga lw'ekufuuka kanaaluzaala w'endwadde

Essimu gy'oyita mukwano gwo asinga lw'ekufuuka kanaaluzaala w'endwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

Endwadde ezitakuggwaako ezikumalako ssente zandiba ziva ku ssimu gy'okwata olutatadde

Ebbangalyomalangokutamyeliyinzaokuviirakookulumwaomutwewebuse 703x422

Omuwala ng'anyiga essimu ng'akutamye

Bya Prossy Nababinge

Ebintu bingi bye tukolera ku ssimu zaffe, era abamu zaafuuka mikwano gyabwe egisinga ng’obudde obusinga okwo kwe babumalira.

Okwagala ennyo essimu yo si kikyamu wabula ate ekyandisinze, kwe kumanya nti weetaaga okwekomako mu kugikozesa.

Waliwo obulumi bw’ofuna ne weebuuza kwe buvudde nga weerabidde nti essimu butwa gy’oli.

 muwala ngakyusa ensingo olwebinywa Omuwala ng'akyusa ensingo olw'ebinywa

 

Dr. Byron Kawooya, owa Aga Khan University Hospital annyonnyola nti, essimu ze tugula obuwanana zisobola okubeera ensibuko y’obulamu obulungi kyokka mu ngeri y’emu, ebbanga ly’ogimalako liyinza okukusakira endwadde ezitali zimu n’obulumi mu bitundu byo eby’omubiri, omuli zino:

  1.  Okulumwa ensingo: Mu kukozesa essimu, abantu bangi bagikwatira wansi olwo ne kibeera nga kibeetagisa okukutama. Kino kireetera ebinywa by’omu bulago okukalambala ekivaako okulumwa omutwe n’obulumi obusibuka mu bitundu by’ebibegabega. Kino osobola okukyewala ng’okuumira essimu okumpi n’amaaso go kiggyewo obwetaavu bw’okukutamya ensingo yo buli kiseera.
 ssimu gikolereko nga tokutamye ngono Essimu gikolereko nga tokutamye ng'ono

 

  1.  Okulumwa engalo: Kino kituukawo ssinga ebinywa by’engalo zo obikuumira mu kifo kimu ekiyinza n’okuvaako okuwulira ng’oliko obuntu obukufumita mu mukono oba mu bitundu by’engalo. Kino kituukawo ssinga essimu eno olwawo ng’oginyiga era osobola okukyewala ng’osalawo okufunira essimu yo weetuula, naawe n’ofaayo okugolola ebinywa by’engalo zo olutatadde.
  1.  Okulumwa mu bitundu bya kakokola: Kino kituukawo ssinga obusimu bw’omubiri ekika kya ‘Ulnar nerve’ obugatta ensingo, akakokola n’omukono bunyigirizibwa. Kino kireeta obulumi n’okusannyalala mu bitundu by’akakokola nga n’oluusi obulumi buno busaasaanira omukono gwonna okutuuka ku ngalo.  Obulumi buno osobola okubwegobako ng’ofuula okugolola emikono gyo ekitundu ku bulamu bwo, naddala ng’ogigolola ogizza mabega kisobozese obukokola bwo okwegolola obulungi.
 mikono nengalo bikozese dduyiro ngono Emikono n'engalo bikozese dduyiro ng'ono

 

  1.  Okukala amaaso: Buli lw’otemya, amaaso go gafulumya amaziga ekintu ekigakuuma nga galina amazzi, okutunula ku ssimu yo okumala ebbanga kikuleteera okutemya ekitono ekivaako okwokerera mu maaso, okukala n’okumyukirira. Embeera eno osobola okugimalawo ng’okakasa nti buli luvannyuma lw’obutikitiki 20, amaaso go ogaggya ku ssimu yo n’ogatunuuliza ekintu ekikuli ewalako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.