TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Akakiiko akagenda okuyambako okulwanyisa abafuuweeta taaba katongozeddwa

Akakiiko akagenda okuyambako okulwanyisa abafuuweeta taaba katongozeddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

Akakiiko akagenda okulwnayisa abakola sigala katongozeddwa ne kassibwako amateeka amakakali

Img026710webuse 703x422

Minisita w'ebyobulamu, Jane Ruth Aceng (wakati) ng'ali n'abamu ku bammemba b'akakiiko akaatongozeddwa nga bakutte akatabo akalimu amateeka kwe balina okutambulira

Bya Jaliat Namuwaya

Abakyalemedde ku kufuuweeta taaba bubakeeredde. Gavumenti etongozza akakiiko ak'oku ntikko akagenda okuyambako mu kulwanyisa okw'omuggundu omuze guno akayitiddwa ‘National Tobacco Control Committee’.

Akakiiko kano kakulirwa abakungu okuva mu ofiisi ya Ssaabaminista ng’era katuulwako abantu 12 okuva mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo okuli ministule y'ebyenjigiriza, ey'ebyobulamu, ey’ekikula ky’abantu, ey'ebyobulimi, ey'obutonde bw’ensi n’endala.

Bw’abadde atongoza akakiiko kano ku mukolo ogubadde ku Hotel Africana mu Kampala, minisita avunaanyizibwa ku byobulamu, Jane Ruth Aceng abakuutidde okulaba nti bassa mu nkola ebyo byonna ebyalambikibwa mu tteeka ery'okulwanyisa taaba erya ‘Anti-Tobacco law’ omuli obutafuuweetera sigala mu lujjudde, kkampuni okulanga obulabe obuli ku kufuuweeta sigala, obutamutundira mu bifo bya lukale nga kw’otadde n'engassi oba okusibwa eri abo ababa bamenye etteeka lino.

 inisita webyobulamu ane uth ceng wakati nomukungu owa  ku kkono ssaako owa minisitule yebyobulamu Minisita w'ebyobulamu, Jane Ruth Aceng (wakat)i n'omukungu owa WHO (ku kkono) ssaako owa minisitule y'ebyobulamu

 

Wabula minisita alabude bammemba b’akakiiko kano nti omulimu gwe bayingiddemu gulimu ebikemo bingi okuva eri kkampuni ezikola sigala eziyinza okwagala okubaggya ku mulamwa nga babaliisa enguzi.

Dr. Yonas Tegegn Woldemariam, ng’ono y’akiikirira ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ekya World Health Organization mu Uganda akkaatirizza minisita ky’ayogede nti kkampuni ezikola sigala zirina obutitimbe bw’ensimbi era tekizigaana kussaamu  ssente ezisinga ne ku z’embalirira ya bajeti ya Uganda mu kulwanyisa etteeka erikugira taaba. Bw’atyo kwe kusaba akakiiko kano obutagezaako kulya nguzi kutunda ggwanga.

Yeeyamye nti, bo nga aba World Health Organization baakugenda mu maaso n’okuyamba Uganda mu kulwanyisa taaba.

Akakiiko kano kateekeddwaako amateeka amakakali ge kalina okugoberera nga kakakkalabya emirimu gyako okuli:

 inisita webyobulamu ane uth ceng wamu ne bammemba bakakiiko akaatongozeddwa   Minisita w'ebyobulamu, Jane Ruth Aceng wamu ne bammemba b'akakiiko akaatongozeddwa

 

1.   Mmemba yenna anaakwatibwa mu kulya enguzi waakugoberwawo.

2. Anaalemererwanga okubeeranga mu nkiiko okumala entuula ssatu naye ajja kuba aggyibwa ku kakiiko.

3.  Oyo yenna atuula ku kakiiko kano alina okufuba okulaba nti mu makaage wadde ne mu b’eng’anda ze temuli afuuweeta sigala.

4. Ate era abatuula ku kakiiko kano tebalina kuba na nkolagana yonna ne kkampuni ezikola sigala.

Abantu abali eyo mu bukadde 7 be bafa buli mwaka mu nsi yonna ng’obuzibu buva mu kufuuweeta sigala, ate wano mu Uganda okukozesa taaba kuvuddeko bangi okulusuulamu akaba oluvannyuma lw’okukwatibwa agalwadde agakambwe nga kookolo, akafuba, sukaali n’endala nnyingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze