TOP

Ebirungi by'okulya Okra

By Olive Lwanga

Added 1st May 2019

Okra alimu ebirungi bingi ebiyamba obulamu bw'omuntu omuli n'okutangira endwadde ezitali zimu ng'amaaso, ensigo, asima n'endala.

Okra1 703x422

Okra nga bw'afaanana

OBADDE okimanyi nti ekibala kya Okra kirungi nnyo eri obulamu bw’omuntu. Mulimu ebiriisa bingi ebiyamba omubiri gw’omuntu okubeera omulamu obulungi.

Robinah Bihemaiso omukugu mu by’emmere agamba nti Okra ayamba okuwulira nga wenna ojjudde. Alina ebiwuziwuzi ebiyamba omuntu okuwulira nga mukufu okumala akaseera akawerako ekikuyamba okwewala okulya obumpwakimpwaki nga chips ezitalina mugaso mu mubiri.

Ayamba ku ssebusa okugoya obulungi emmere olw’ebiwuziwuzi ebimulimu. Olubuto terwesiba oba ofuluma bulungi era akuyamba okusala ku mugejjo n’okukuuma omubiri nga mulamu bulungi.

Taliimu masavu mabi, kirungi ekintu ky’olya nga kikukusa ate nga tekikugezza. Olw’okuba taliimu masavu osobola okumulya ku buli mmere n’osigala ng’omubiri gw’esalako.

Okra ayamba okunaaza obutwa n’okuyamba okukendeeza amazzi agatalina mugaso ag’omugejjo. Ayamba n’olubuto obutabaamu gaasi kugulumba.

Ayamba okukendeeza ku masavu amangi. Olwa Pectin ali mu Okra akendeeza ku masavu amabi agaba mu mubiri ekiyamba omutima okuba nga gukola bulungi.

Ayamba okulwanyisa kkookolo, alina ekirungo ekigoba obutwa mu mubiri ate ayamba obutafaali okulwanisa amasanyalaze (radicals) agayinza okuleeta kkookolo.

Okra ayamba okugumya obwerinzi bw’omubiri. Olw’ebiwuziwuzi ebiri mu Okra byetaagibwa ku buwuka obusirikitu obuli mu byenda byaffe, ebizimba obwerinzi bwaffe eri obuwuka ne yinfekisoni. 

Eyamba ku bugimu n’okuba olubuto nga lulamu bulungi. Alimu folate eyetaagibwa ku mukyala nga tannaba kufuna lubuto, akendeeza ku mbeera y’enseke obutazibikira. Era n’okulya folate asangibwa mu Okra ayamba maama ali olubuto okuba omulamu obulungi n’omwana ali munda.

Ayamba okukuuma ssukaali ngali wamu, talinnya ate takka. Okra alimu ebiwuziwuzi ebyetaagisa okukendeeza ku ssukaali omungi mu mubiri n’okumukuuma ngali ku ddaala limu ate n’ayamba ku bitundu ebivunaanyizibwa ku kugoyagoya emmere okukola obulungi.

Ayamba okutangira obulwadde bwa sukaali. Okunoonyereza kulaga nti ng’ogyeko okukuumira ssukaali awamu, okra ayamba mu kukendeeza sukaali okulinnya era ayinza okuyamba ku kutangira obulwadde bwa sukaali.

 Ayamba okutangira endwadde z’ensigo. Okunoonyereza kulaga nti okulya okra kuyamba okukendeeza ku buvune obwandituuse ku kibumba ebiseera ebisinga.

Ayinza okuyamba okukendeeza ku bubonero bwa asima. Olwa doozi ya Vitamin C esangibwa mu Okra akawanaganyizibwa n’okuyamba ku ndwadde ez’ekuusa ku kussa nga Asima.

Akuyamba okuwa enviiri langi ennungi nga zimasamasa. Bw’ofumba okra n’awola bulungi n’omugattamu omubisi gw’enniimu n’osiiga mu nviiri ziba zirabika bulungi.

Mulungi ku bwongp, amanyiddwa ng’ekyokulya ekisinga eky’obwongo.

Ayamba ku binywa, ennyingo n’okujanjaba endwadde z’amawugwe, amabwa g’omubulago n’ebirala.

Ayamba ku maaso okuba amalamu, olwa Vitamin C ne A ali mu Okra ayamba okukendeeza ku mikisa gy’okufuna endwadde z’amaaso.

Ayamba okugumya amagumba. Olw Vitamin K ne folate, Okra ayamba okutangira amagumba okufuna obuvune.

Mulungi ku lususu, olwa Vitamin C omungi ali mu Okra ayamba ku lususu n’okuzza pobuggya obutafaali bw’olususu ekivaako olususu okulabika  nga lugonvu nga luto ate nga lulamu bulungi.

Alimu ekiriisa ezizimba omubiri, mwangu wa kugoyagoya mu lubuto.

Ayamba okuwonya alusa aliko ekikuta ekya kiraga bw’okirya kiyamba mu kwanguya okujanjaba amabwa g’omu lubuto.  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop2 220x290

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo...

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo n'agenda okwetunda Poliisi emukutte

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...