TOP

Abakadde babanguddwa ku biyinza okubakuumira mu bulamu obweyagaza

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2019

Abakadde bakubiriziddw aokukola dduyiro abayambe okutangira endwadde ezibakwata olw'okwezinga awamu.

Abamukubakaddeababaddebeetabyekumukologunonebiraboebyabaweereddwawebuse 703x422

Abamu ku bakadde abajjumbidde omusomo

Bya Joanita Nakatte

Mu bikujjuko by’okujaguza olunaku lw’abakozi mu ggwanga, abakulembeze okuva mu munisipaali y'e Mukono baasazeewo okutegekera abakadde omusomo ogw’enjawulo ku bwe bayinza okwekuumira ku mulembe n’obutafuna ndwadde eziyinza okubasaanyaawo mu kiseera we batandifiiridde.

Abakulembeze okwabadde bakansala ne bassentebe b’ebyalo eby’enjawulo mu Mukono baasoose kutegekera bakadde misinde olwo aboogezi ab’enjawulo ne babakubiriza okwewala okukozesa obukadde bwabwe ng’ekyokwekwasa okulera engalo n’obutabaako bye bakola, ekyongera okunafuya ebinywa by’emibiri gyabwe n’okwesibako endwadde.

 myuka meeya wa ukono amada ajoba ngakwasa abakadde ebbaafu Amyuka meeya wa Mukono, Jamada Kajoba ng'akwasa abakadde ebbaafu

 

Meeya George Fred Kagimu, yagambye nti basazeewo okumala obudde n’abakadde bano n’ekigendererwa eky’okubazza mu mbeera okulaba nga tebeekubagiza nga kw’ogasse n’okubanjulira ate era n’okubamanyisa obulungi bwa dduyiro ow’omugaso mu bulamu bwabwe ayinza okubayamba okwetangira endwadde ezibassa ku ndiri ssinga babeera bamwemanyiizizza.

Tulowooza nti, kino kye tukoze kigenda kuzzaamu abakadde essuubi n’okuteeka bye tubasomesezza mu nkola ku lw’obulungi bw’obulamu bwabwe, ate era n’obuwangaazi. Bwe banaakyusa mu mbeera zaabwe ezaabulijjo ze tubasomesezza okuli okulya obulungi, okwebaka ekimala n’okwenyigira mu mirimu egy’amaanyi ng’okulima, bino byonna byakubayamba okukuuma obwongo bwabwe nga bukola bulungi n’obuteerabira,” Kagimu bwe yategeezezza.

Yabasuubizza okubakolera enteekateeka ku ddwaaliro lya Gavumenti e Mukono okulaba nga bakolebwako amangu ddala nga batuuse mu ddwaaliro, kibayambeko obutayimirira n’okulinda ebbanga eggwanvu olw’obungi bw’abantu ababeera bazze okufuna obujjanjabi.

 eeya red agimu ngayogera eri abakadde Meeya Fred Kagimu ng'ayogera eri abakadde

 

Esther Nakyazze (Baroma) yakunze  abantu okuwa bakadde baabwe obudde obumala n’obutabasuulirira okwewala okweraliikirira n’okwekubagiza ekibaviirako okunafuwa n’okufuna endwadde ez’enjawulo ze batandifunye.

Yasabye abakadde okubaako emirimu egy’enjawulo gye beenyigiramu naddala egy’okutambula bafunemu nga beekuumira ku mulembe nga balamu, ate n’okufuna ensimbi entonotono ez’okwebeezaawo nga tebatunuulidde za baana baabwe.  

Hannington Kabugo, omu ku bavunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu mu kitongole kya KCCA era nga y’omu ku bawomye omutwe mu nteekateeka eno, yasuubizza okutegeka emisinde gy’abakadde ku ntandikwa y’omwaka ogujja ng’ ensimbi ezinaavaamu za kuyamba okujjanjaba abantu abakuliridde mu myaka naddala abalina endwadde ey’okukankana.

Abakadde ababadde abasanyufu baaweereddwa ebintu eby’enjawulo okwabadde leediyo, ebbaafu n’ebirabo ebirala ab’ekitongole ekya Perkinson’s okuva e Bungereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze