TOP

Nankabirwa atonedde eddwaaliro ly’e Bukomero ambyulensi

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2019

Abakyala b'e Bukomero bawomnye okuzaalira ku kkubo omubaka waabwe Ruth Nankabirwa bw'abagulidde ambyulensi okubatambuzanga nga batuusizza okuzaala.

Kbg2webuse 703x422

Abakulembeze b'e Kiboga nga bali n'omubaka Ruth Nankabirwa (mu gomesi n'ektambaala ekya kyenvu) addiriddwa minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero Amelia Kyambadde n'akulira abakyala mu NRM Lydia Wanyoto nga batongoza ambyulensi Nankabirwa gye yawadde eddwaaliro ly'e Bukomero.

Bya Paul Kakande

Oluvannyuma lw’ekiseera ng’eddwaaliro lya Bukomero Health Center IV teririna mmotoka etambuza balwadde, omubaka omukyala ow’e Kiboga era Nampala wa Gavumenti mu Palamenti Ruth Nankabirwa Sentamu adduukiridde omulanga gwa Bannakiboga n’emmotoka ya ambulensi eyambe mu kutambuza  abalwadde okuva mu bitundu eby’enjawulo okubatwala ku ddwaaliro ku bwereere ate n’okubaggya e Bukomero okubongerayo ssinga wanaabangawo obwetaavu.

Nankabirwa mmotoka eno yagyanjulidde ku mukolo gw’abakyala ogwabadde e Kiboga kwe baajagulizza olunaku lwabwe.

 mbyulensi eyatoneddwa omubaka ankabirwa bwefaanana Ambyulensi eyatoneddwa omubaka Nankabirwa bwefaanana

 Yategeezezza nti, ambyulensi eno egenda kusinga kukola ku kutambuza abakyala abagenda okuzaala kubanga be basinga okusanga obuzibu obunene obw’entambula era omuwendo gw’abakyala abakosebwa oluusi ne bafuna n’obuzibu obw’amaanyi nga batambuzibwa ku bodaboda gubadde gweyongedde.

“Ng’omukyala ate omuzadde kibadde kinnuma okuwulira nti waliwo omukyala eyafunye obuzibu ng’azaala olw’okulwawo okutuuka mu ddwaaliro. Kye nva nasazeewo eddwaaliro lyaffe ery’e Bukomero okuligulira ambyulensi eno eyambeko nga bwe tulinda Gavumenti okutwongera emmotoka endala.” Nankabirwa yagambye nti, agenda kufuba okulaba nga n’amalwaliro amalala agatalina ambyulensi nga ery’e Muwanga ne mu Ddwaniro nago gafuna emmotoka nga emu ku nteekateeka ze ez’okulaba ng’atumbula ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kiboga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba