TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Enteekateeka z’okulwanyisa siriimu tezirina kusosola baliko bulemu

Enteekateeka z’okulwanyisa siriimu tezirina kusosola baliko bulemu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2019

Abaliko obulemu abalina akawuka ka siriimu basabye bakome okusosolwa mu malwaliro n'ebitongole ebiyamba abalina akawuka.

Img0576webuse 703x422

Omubaka Alex Ndezi (ku kkono) n'omubaka omukyala ow'abaliko obulemu Sophia Nalule nga boogera eri abaliko obulemu

 

Bya Phiona Nanyom

Abaliko obulemu e Masaka bakukkulumidde ebitongole ebivunaanyizibwa ku kulwanyisa akawuka ka siriimu olw'okubasosola so nga nabo bantu ng’abalala era nga beetaba mu bikolwa eby'omukwano.

Bano nga bakulembeddwaamu ababaka baabwe mu Palamenti okuli Alex Ndezi ne Sophia Nalule baategeezezza nti, ebitongole nga TASO, Uganda Cares  n’amalwaliro amalala abalina akawuka ka siriimu gye bagenda okufuna eddagala basusse okusosola abantu abaliko obulemu so nga nabo beetaaga okubudaabudibwa. 

Okukukkuluma kuno baakukoledde ku wooteeri ya Maria Flo e Masaka ku mukolo kwe baatongolezza lipooti eraga engeri disitulikiti ettaano okuli: Masaka, Lwengo, Kalungu, Bukomansimbi ne Ssembabule gye zisudde omuguluka enteekateeka y’okulwanyisa akawuka ka siriimu mu baliko obulemu mu mbalirira zaabwe ez’ebyobulamu.

 bamu ku baliko obulemu abeetabye mu lukungaana lwabwe Abamu ku baliko obulemu abeetabye mu lukung'aana lwabwe

 

Lipooti eno ekoleddwa ekitongole kya Masaka Association of Disabled Persons Living with HIV AIDS (MADIPHA) ekiyambako abantu abaliko obulemu nga balina  akawuka ka siriimu okufuna obujjanjabi, eraga nga ku disitulikiti zino 5, bbiri zokka okuli Lwengo ne Kalungu ze zoogera ku bantu bano mu ngeri ey’enjawulo wabula nabo tebalina nsimbi zonna ze baateekako okussisa bye baayisa mu nkola.

Sophia Nalule Jjuuko, omubaka omukyala ow’abaliko obulemu agamba nti, endowooza enkyamu abantu abamu nga muno mwe muli n’abateekerateekera eggwanga naddala mu byobulamu gye bakyalina nti abaliko obulemu tebeenyigira mu bya mukwano noolwekyo tebasaasaanya kawuka ekivaako n’obutatunuulirwa mu nteekateeka gukyali muziziko munene mu kaweefube ow’okulwanyisa akawuka ka siriimu.

 mubaka ophia alule nabamu kubaliko obulemu abeetabye mu lukungaana lwabwe e asaka Omubaka Sophia Nalule n'abamu kubaliko obulemu abeetabye mu lukung'aana lwabwe e Masaka

 

Yagambye nti, lipooti eyakoleddwa ekitongole kya MADIPHA eraga engeri embalirira za disitulikiti zino bwe zitalina we ziragira mutemwa gwonna ku nsonga eno ate ng’ebyafaayo byabwe byawukana ku by’abalala.

Yasabye Gavumenti eyongere amaanyi mu kulondoola embeera eno ate ne ssente ezigenda ku disitulikiti okutumbula embeera z’abantu abaliko obulemu zongerweko.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...