TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • KCCA ya kukendeeza ebidduka mu Kampala okulwanyisa endwadde z'amawuggwe

KCCA ya kukendeeza ebidduka mu Kampala okulwanyisa endwadde z'amawuggwe

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

Mu kaweefube w'okulwanyisa endwadde z'amawuggwe KCCA ya kukendeeza ku bidduka ebijja mu kibuga ng'etandise na kukola nguudo ziyitako ba bigere bokka.

Kccawebuse 703x422

Dr. Bruce Kirenga, dayirekita wa Makerere University Lung Institute (ku kkono) n'akulira KCCA Andrew Kitaka (ku ddyo) n'abalala nga bakubaganya ebirowoozo ku birina okukolebwa okukendeeza omukka ogw'obulabe mu Kampala.

Bya Benadino Kate

KCCA ya kukendeeza ku muwendo gw’ebidduka ebikolera mu Kampala kiyambe okukendeeza ku mukka omubi ogususse mu kibuga oguvaako abantu okulwala endwadde z’amawuggwe.

Bino byayogeddwa akulira ekitongole kya KCCA Andrew Kitaka mu lukung’aana olw’okukubaganya ebirowoozo olwategekeddwa KCCA ne Makerere University Lung Institute olwabadde ku ddwaaliro e Mulago.

Olukung’aana luno lwagendereddwaamu okusala empenda okulaba engeri gye basobola okukendeeza ku muwendo gw’abantu abakwatibwa obulwadde bw’amawuggwe mu ggwanga.

 bamu ku beetabye mu lukiiko olwokukubaganye ebirowoozo ku ngeri yokukendeeza oba okumalawo endwadde zamawuggwe ezisinze okuva mu mukka ogwobutwa oguli mu ampala naddala okuva mu bidduka wookusatu ku kkono yakulira  ndrew itaka Abamu ku beetabye mu lukiiko olw'okukubaganye ebirowoozo ku ngeri y'okukendeeza oba okumalawo endwadde z'amawuggwe ezisinze okuva mu mukka ogw'obutwa oguli mu Kampala naddala okuva mu bidduka. Owookusatu ku kkono, y'akulira KCCA Andrew Kitaka

 

Kitaka yagambye nti, ebidduka ebisusse mu kibuga omuli bodaboda, mmotoka, enfuufu n’omukka oguva mu makolero bye bimu ku bintu ebisinga okwonoona empewo gye tussa nga kino kivuddeko abantu bangi okulwala endwadde z’amawuggwe nga birina okukendeezebwa.

“Tugenda kukola enguudo eziyitibwako ab’ebigere nga tetukkirizaako kidduka kyonna, tugenda kuleeta entambula ya bbaasi tukendeeze ku takisi ezireeta omujjuzo mu kibuga ate ne bobaboda zaakukendeezebwa,” Kitaka bwe yagambye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba