TOP

Kozesa 'vinegar' okugoba yinfekisoni ezitawona

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

Kozesa 'vinegar' okugoba yinfekisoni mu bitundu byo ebyekyama

Vinegar3webuse 703x422

Omukyala ng'ateeka vinegar mu mazzi g'okunaaba

Bya Prossy Nababinge

Okusiiyibwa mu bitundu eby’ekyama kamu ku bubonero obulaga nti, olina yinfekisoni nga kandida n’endala. Kyokka abantu bangi beesanga nga n’oluvannyuma lw’okuzijjanjaba, ate zikomawo oluvannyuma lw’akaseera akatono ddala.

Dr. Beatrice Najjemba, okuva ku ddwaaliro e Mulago annyonyola nti, si kirungi kupakira ddagala mu mubiri ng’olwanyisa yinfekisoni.

 muwala nga yeetakula ebitundu byekyama Omuwala nga yeetakula ebitundu byekyama

 

Ono agamba nti, ssinga oweebwa doozi y’eddagala esukka mu emu kyokka n’otawona, kibeera kirungi eddagala n’oliwummuza okwewala okunafuya amaanyi g’ebitundu byekyama okulwanyisa obuwuka.

Mu ngeri eno, awa abalina ekizibu kino amagezi okweyambisa ‘vinegar’.

Ono yeeyambisibwa mu kuteekateeka ebyokulya naddala saladi okutta obuwuka.

Mu ngeri y’emu naawe alina yinfekisoni, ‘vinegar’ ono alina obusobozi bw’okulinnyisa asidi mu bitundu byo ebyekyama ne kivaako obuwuka buno okufa.

 muwala ngakebera akacupa ka vinegar Omuwala ng'akebera akacupa ka vinegar

 

Kino osobola okukikolera ebbanga lya wiiki emu ng’okwata akasaanikira ka ‘vinegar’ kamu n’okagattamu obusaanikira bw’amazzi 6 n’olyoka weeyambisa amazzi gano okutawaaza oba okulongoosa ebitundu byo ebyekyama era nga kino kikolebwa omukazi n’omusajja.

Mu ngeri eno, ebitundu byo ebyekyama obeera obiwadde omuserikale atasobozesa buwuka obuleeta yinfekisoni kweyagalira mu mubiri gwo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze