TOP

Endabika y’omusaayi gwo ng’oli mu nsonga eranga endwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2019

Genderera langi y'omusaayi gw'ofulumya ng'oli mu nsonga okutangira obuzibu obuyinza okusajjuka.

Pads1webuse 703x422

Buli omukyala lw'obeera mu nsonga genderera langgi y'omusaayi gw'ofulumya

Bya Prossy Nababinge

Kya butonde abakyala n’abawala abavubuse okugenda mu nsonga buli mwezi nga kamu ku bubonero nti balamu bulungi.

Kino wano mu Buganda kiyitibwa kuzza mukono emabega wabula ng’ekyennaku kiri nti olw’okuba ennaku bweziti omukyala alina okuzikuuma nga za kyama, bangi ate tebafaayo kulondoola ekyo ekigenda mu maaso n’omubiri gwabwe mu nnaku zino naddala ku kika ky’omusaayi gwe bafulumya anti bangi ku bano, baswala n’okutunuulira paadi ze bakozesezza.

Okukyusa ekifo ne by’olya biyinza okutaataaganya engeri gy’ofulumya omusaayi mu nnaku z’okugenda mu nsonga kyokka oluusi, oyinza obutabeerako ky’okyuusa kyokka era n’ofuna okutaataganyizibwa mu nsonga zo.

Wano olina okweraliikirira anti, engeri gy’ofulumyamu omusaayi n’endabika yaagwo buyinza okubeera obubaka gy’oli ku bulamu bwo we buyimiridde kati n’ekiyinza okukutuukako mu maaso eyo ssinga obeera tofuddeeyo.

 nfaanana yomusaayi gwofulumya yandikutemyako ku buzibu Enfaanana y'omusaayi gw'ofulumya yandikutemyako ku buzibu

 

Lw’olina okweraliikirira

Dr. Beatrice Najjemba okuva ku ddwaaliro e Mulago annyonnyola nti, buvunaanyizibwa bwa buli mukyala n’omuwala okufaayo ku ky’afulumya mu kiseera kino n’okugenderera enkyukakyuka mu ngeri n’endabika yaagwo.

Ono agamba nti, omusaayi gw’omuntu omulamu obulungi tegulina kubeera na bitole naddala ebyo ebinene. Guno gubeera gwa langi emmyuufu eyakaayakana, nga si mukwafu ate nga si gwa luzzizzi.

Mu ngeri eno agamba nti, ssinga gubeera gwa bitole ebinene oba nga guli mu langi okuli; eya kitakataka, enzirugavu oba langi eyagala okwefaananyiriza eya pinka nga guno gutera kubeera gwa luzzizzi, obeera olina okweraliikirira.

Kino agamba nti, kitera okuva ku bintu bibiri okuli; yinfekisoni mu nseke nga zino ebiseera ebisinga zitandikira mu nnabaana n’obutakwatagana bw’obusimu bw’omubiri.

Ebirala by’olina okugenderera

Omukyala yenna alina okudda mu nsonga ze oluvannyuma lw’ennaku 28 era ng’ennaku z’alina okumala mu nsonga ze tezirina kusukka 3 ku 4. Kyokka Dr. Najjemba agamba nti, waliwo abantu abagenda mu nsonga oluvannyuma lw’ennaku 21 oba 30 era nga kino nakyo tekyeraliikiriza.

Wabula agamba nti, ssinga ennaku z’omala mu nsonga zikyuka okugeza ng’okuva ku nnaku 4 okudda ku 2, awo nno kibeera kikwetaagisa okutuukirira omusawo omukugu okeberebwe okuzuula ekituufu ekikireese.

Mu ngeri y’emu, ssinga tofaayo ku bubonero buno bw’ofuna mu biseera byo, oyinza okulemererwa okugenda mu nsonga oba okuzigendamu nga bw’oyosa ekiyinza okuvaako ebizimba mu lubuto oluusi n’okulemererwa okuzaala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...