TOP

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa mu ddwaaliro

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2019

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Wanikaamaguluwebuse11 703x422

Dr. Ntwali ng'alaga bw'ogalamiza azirise ku mugongo gwe

Bya Norah Mutesi  

Ebintu bingi ebireetera omuntu okuzirika. Okugeza, ssinga obeera tolidde mmere ate n’ogenda okukola dduyiro osobola okuzirika, ssinga obeera tolina musaayi n’ebirala bingi. Abasawo bannyonnyola ku nsonga eno:

Cephas Ntwali, omusawo ku St. Mary’s Family Clinic agamba nti omuntu azirise mwebase kyabugazi omusaayi gusobole okutuuka ku bwongo ne mu bitundu by’omubiri ebirala.

Muwanike amagulu okugeza ku butto asobole okudda engulu amangu n’omusaayi okutambula mu mubiri amangu.

Ekintu kyonna ekibeera ku mubiri gw’omuntu oyo nga kimukutte okugeza lugoye, ettaayi, sitokisi n’ebirala, oteekeddwa okukisumulula, asobole okufuna empewo obulungi.

Awantu awagalamiziddwa omuntu azirise wateekeddwa okuba nga tewali bantu bangi, asobole okufuna empewo ennungi.

 r twali ngalaga bwowanika amagulu gazirise ku butto okumuyamba omusaayi gutambule bulungi ate mu bwangu Dr. Ntwali ng'alaga bw'owanika amagulu g'azirise ku butto okumuyamba omusaayi gutambule bulungi ate mu bwangu

 

Bw’aba mulwadde wa nsimbu, muteeke ekigiiko mu kamwa kimuyambe obuteeruma lulimi.

Okubirizibwa okuyita omusawo mu bwangu, kubanga y’asobola okunnyonnyola ekituufu ekivuddeko omuntu oyo okuzirika.

Ssinga omuntu abeera awonye, muleke awummule okumala ebbanga, era omuyambeko okuteeka okugulu kwe ku kulala ng’akufunyizzaako.

Abalwadde ba sukaali bakubirizibwa okutambula so si kutandika na kudduka.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...