TOP

Sikoseero; Abulina tewekubagiza wakyaliyo essuubi

By Olive Lwanga

Added 27th June 2019

ABAAGALANA baawukanye ng’obuzibu buva ku kuzaala baana abalina siikoseero ne batandika okwerangira n’abasajja okwegaana bwe batazaala baana bakalwalira.

Sickle 703x422

Mercy Nabunnya, akulira ekifo awakebererwa obulwadde bwa siikoseero mu Central Public Health Labaratories, Butabika.

Bya OLIVE LWANGA NE RUTH NAZZIWA 

ABAAGALANA baawukanye ng’obuzibu buva ku kuzaala baana abalina siikoseero ne batandika okwerangira n’abasajja okwegaana bwe batazaala baana bakalwalira.

Abakulembeze b’eddiini, ab’ebyobulamu n’abakulembeze abalala bakubiriza abaagalana okusooka okwekebeza obulwadde bwa siikoseero nga tebannazaala kuba abaana abafunibwa babeera mu bulumi obulamu bwabwe bwonna. 

 uth ankanja akulira ekibiina ekigatta abalwadde ba siikoseero Ruth Nankanja, akulira ekibiina ekigatta abalwadde ba siikoseero.

 

NNINA SIIKOSEERO N’ABAANA 3

Ruth Nankanja Mukiibi 45, akulira ekibiina ekigatta abalwadde ba siikoseero agamba nti;

Nakulira mu ddwaaliro lya gavumenti buli kimu we kyabeereranga eky’obwereere, baatufumbiranga caayi, nga batuwa amazzi ag’okunywa, eddagala erizzaamu omusaayi ate mu budde obunnyogovu nga batuwa eby’okwebikka.

Ebiseera ebyo buli kimu kyali kirungi nga tufiibwako nnyo.

Bwe nnali hhenda okufumbirwa nasooka kukebeza baze Mukiibi era n’amanya nti nnina siikoseero ne mmusomesa n’engeri gy’alina okundabiriramu.

Nneebaza Katonda nti, nfumbye emyaka 16 ng’omusajja tangobangako ate ng’andabirira bulungi era tulina n’abaana.

Ebimu ku bitta abantu abalina siikoseero kweraliikirira olw’ebigambo bye bawulira okuva mu bantu kuba babawa emyaka kwe balina okufiira, babasosola, ebintu ebimu tebasobola kubikola.

Olwo bwe batandika okubirowoozaako ennyo nga bafa.  Abamu beeraaliikirira ebibuuzo y’ensonga lwaki abamu bafiira mu bibiina eby’akamalirizo. 

 ictoria endo asomesa ku yunivasite ya  mulwadde wa siikoseero Victoria Tendo, asomesa ku yunivasite ya KIU, mulwadde wa siikoseero.

 

MMAZE EMYAKA 31 NE SIIKOSEERO

Victoria Tendo Nannyanzi, omusomesa ku Kampala International University agamba nti amaze emyaka 31 ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa siikoseero era annyonnyola bw’ati:

Okuva lwe natandika okutegeera nga nnina siikoseero, tetwavanga mu ddwaaliro ne maama kuba ye yankuza. 

Wabula ekiseera kyatuuka nga nnina okwefaako okusobola okubaawo.

Nafubanga okwerabirira nga nnywa amazzi buli lunaku waakiri liita ttaano kino nga kisobozesa omusaayi okudduka ku misinde emingi obutoffaali obugongobavu ne butambula nga sifunye bulumi bwa maanyi.

Nfuba okulaba nga ndya emmere erimu ebiriisa byonna okugeza ebibala, enva endiira, eryenvu nga lya buli lunaku, n’ebirala ebinnyamba okunzizaamu omusaayi n’okuyamba abaserikale bange ab’omubiri okulwanyisa endwadde.

Wabula eky’okuba n’obulwadde buno tekingaana kukola era ndi mukyala mukozi eyakuguka mu kubudaabuda abantu. 


Minisita w’ebyobulamu Dr. Ruth Jane Acheng agamba nti, naye alina omwana alina siikoseero ate naye alina akatoffaali akamuleeta.MWANNYINAZE YAZUULIBWA KU MYAKA 18 NG’ALINA SIIKOSEERO - MINISITA ACHENG

Kyokka mwannyina gw’addako alina siikoseero era yali takula bulungi nga buli kiseera akaaba naye ng’abazadde tebamanyi kimutawaanya okutuusa lwe yaweza emyaka 18 olwo ne bazuula ekituufu kwe kutandika okumulabirira n’okumujjanjaba nga kati alina emyaka 54.

Nkubiriza abalina siikoseero obutagenda ku basawo batajja kubawa bujjanjabi butuufu oba abatalina magezi ku bulwadde buno.

Abaana abalina siikoseero mubaagale, mubafeeko n’okubalabirira kuba nabo basobola okukola ebintu abantu abalala bye bakola.

Mu Uganda ekizibu kya siikoseero kiri waggulu ate abantu bangi babadde bafa mu kasirise.

Okunoonyereza kulaga nti abaana abali wakati wa 15,000 ne 20,000 bazaalibwa ne siikosero buli mwaka, wabula 80 ku buli 100 bafa tebannaweza myaka etaano.

 

Emikisa gy’okuzaala omwana alina sikoseero

Abazadde bombi bwe baba balina akatoffaali ka sikoseero babeera n’emikisa 25 ku 100 okuzaala omwana amulina. Ate era baba n’emikisa 25 ku 100 egy’okuzaala omwana omulamu. N’emikisa 50 ku 100 okuzaala omwana alina akatoffaali akaleeta siikoseero wabula nga ye tebumukosa. 

 r enry dungu naye mulwadde wa siikoseero Dr. Henry Ddungu naye mulwadde wa siikoseero.

 

KW’OLABIRA OWA SIKOSEERO

Dr. Henry Ddungu, ow’eddwaaliro e Mulago agamba nti obulwadde bwa siikoseero osobola okubulabira ku bubonero buno:

1 Omubiri okunafuwa n’okuggwaamu omusaayi

2 Obulumi mu nnyingo n’ebitundu ebirala

3 Okuzimba emikono n’amagulu

4 Yinfekisoni

5 Amabwa ku magulu oba ekitundu ky’omubiri ekirala.

6 Okufuna obuvune ku mawugwe n’omutima n’amaaso.

7 Amagumba okuwogoka. 

ENZIJANJABA YA SIKOSEERO

  • Engeri yokka ey’okujjanjaba sikoseero ya kusimbuliza busomyo n’omuntu oyo atalina ate ng’akwataganya endagabutonde n’omulwadde. Wabula si buli mulwadde nti bamusimbuliza obusomyo.
  • Olumu omwana bw’aba aweereddwa ekitanda ng’awaka balemereddwa batera okumussaako eccupa z’amazzi n’omusaayi.
  • Okutangira omusujja gw’ensiri nga bamira eddagala eribalagiddwa omusawo n’okusula mu katimba k’ensiri.
  • Buli mwana alina okugemebwa naddala obulwadde bwa lubyamira.
  • Dr. Henry Ddungu owa Mulago agamba nti, obujjanjabi obusooka  bwe bw’abaagalana okwekebeza omusaayi nga tebannasalawo kuzaala okukakasa nti temulina oba omu alina ng’omulala talina.
  • Omwana alina sikoseero tumuzuula mangu nga yaakazaalibwa nga tubakebera omusaayi. Enkola kati w’eri ku Uganda Health Laboratory Services e Butabika nga bakeberera bwereere era buli muntu basobola okumukebera.
  • Abaana bonna abalina obulwadde bwa sikoseero baweebwa eddagala eriyamba omwana obutafuna yinfekisoni.
  • Buli kiseera omwana alina sikoseero alina okuba n’eccupa y’amazzi ag’okunywa.
  • Okuziyiza obuzibu obuva mu bulwadde bwa sikoseero omwana alina okutandika ku ddagala lya ‘Hydroxyurea’  wadde si buli abulina nti alikozesa.

EDDAGALA LYAHYDROXYUREA LIKYALI KU BUSEERE

Minisita Acheng yagambye nti, eddagala lya ‘Hydroxyurea’ ekizibu ekiriwo lya buseere ate nga terinaba kuwandiisibwa mu ggwanga.

Minisitule eri mu nteekateeka okulaba ng’eddagala liwandiisibwa mu ggwanga olwo kkampuni zonna ezikola eddagala zisobole okulireeta n’omuwendo gusalike libeere nga ligabwa buli wamu.

Eddagala lino teririna bulabe bwonna ku mulwadde naddala ssinga aba afunye ddoozi entuufu.

 inisita chieng

Minisita Achieng

 

Twetaaga abantu abalala bangi okutendekebwa okulaba nga basobola okutuusa obujjanjabi bw’eddagala lya ‘Hydroxyurea’ eri abalwadde.

Akubiriza abazadde okukebeza abaana nga baakazaalibwa mu nkola eyitibwa ‘New Born Screening’ kibasobozese okutandika eddagala nga bukyali naye yeeyagala ng’omwana omulala yenna.

Obulwadde bwa siikoseero bukwata kifo kya ku mwanjo mu ndwadde ezitambulira mu musaayi okwetooloola ensi yonna.

Noolwekyo buli muntu alina okubwetangira nga tuyita mu kubunyisa amawulire agabukwatako, okwekebeza nga tetunnafumbiriganwa n’ebirala.

Eno y’ensonga lwaki n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku byobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation (WHO) kikola ekisoboka okulaba nga bulwanyisibwa.

Olunaku lwa June 19, buli mwaka Uganda ekuza olunaku lw’obulwadde bwa siikoseero olwassibwawo n’ekigendererwa eky’okwongera okumanyisa abantu ku bulwadde buno.

Omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti, “Okwongera okutumbula obujjanjabi bw’abalwadde ba siikoseero,” era olunaku lwakuziddwa e Butabika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.