TOP

By’olina okukola nga tonnakola dduyiro

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2019

Ebintu by'olina okukola nga tonnatandika kukola dduyiro okwewala obuzibu bw'oyinza okufuna

Neeewwwministryofgendalabourandsocialdevelopmentstaffngabakoladuyirowebuse 703x422

Abakozi ba minisitule y'ekikula ky'abantu n'enkulaakulana nga bakola dduyiro

          

Bya Norah Mutesi                   

Betty Amamukiroli, atuula mu ofiisi okuva ku makya okutuuka olweggulo, era omulimu gwe tegumuganya kukola dduyiro mpozzi ng’ali waka.

Kkampuni gy’akolera yatandikawo pulogulaamu z’abakozi okuddukanga buli lwa Mmande era ne Amamukiroli yeewandiisa okwetabamu.

Naye biki by’olina okukola nga tonnatandika kudduka oba okukola dduyiro ow’ekika kyonna.

Abakugu bakunnyonnyola:

Oteekeddwa okusooka n’oteekateeka omubiri era mu kyo otandika mpola n’okubuuka akaguwa oluvannyuma n’odduka.

 etty mamukiror ngadduka Betty Amamukiroli ng'adduka

 

Paul Nyende, omusomesa ku ttendekero lya Makerere School of Psychology agamba nti omubiri toteekeddwa kugukooya kisusse naddala nga waakatandika okwenyigira mu kudduka, nti naye tandika n’okutambula omubiri gwo gusooke gumanyiire.

Nnewankubadde ng’okukola dduyiro kulungi, eri obwongo n’emibiri gyaffe, abantu tebateekeddwa kukooya mibiri gyabwe kubanga bajja kubyetamwa mangu.

Sam Bona, asomesa dduyiro ku ‘Newvision’ agamba nti omuntu nga tannaba kudduka ateekeddwa okwebuuza ku musawo yenna ow’ebyobulamu n’asooka amukebera oba omubiri gwe gusaana okukola dduyiro oba okudduka okumala akabanga akawera.

“Kino kikulu eri abantu abatatera kudduka oba okukozesa emibiri gyabwe, n’abo abali wakati w’emyaka 45 n’okusingawo,” Bona bw’agamba.

Annyonnyola nti, okudduka oba okukola dduyiro kuteekeddwa okuwerekerwako okulya emmere ezimba omubiri n’ewa amaanyi, n’okunywa ennyo amazzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...